OMUTEESITEESI omukulu mu kibiina kya NUP ayongedde okutabula ebya Kawempe North, bw’awakanyizza engeri gye baawadde Ssegirinya kkaadi okuvuganya ku kifo ky’omubaka w’ekitundu ekyo.
Lawrence Kitatta
Journalist @ New vision
OMUTEESITEESI omukulu mu kibiina kya NUP ayongedde okutabula ebya Kawempe North, bw’awakanyizza engeri gye baawadde Ssegirinya kkaadi okuvuganya ku kifo ky’omubaka w’ekitundu ekyo.

OMUTEESITEESI omukulu mu kibiina kya NUP ayongedde okutabula ebya Kawempe North, bw'awakanyizza engeri gye baawadde Ssegirinya kkaadi okuvuganya ku kifo ky'omubaka w'ekitundu ekyo.

Sulaiman Kidandala Sserwadda kati naye alangiridde nga bw'agenda okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North, nga tajjira mu kibiina kyonna; wadde nga ye muteesiteesi omukulu mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine).

Bakkansala abaaweereddwa kkaadi za NUP mu Kawempe nabo baatuuzizza olukuhhaana lwa bannamawulire ne balangirira ng abwe batagenda kukola na Ssegirinya ne bagamba nti bbo bamanyi Kidandala eyabasikiriza okwegatta ku NUP era gwe bagenda okuwagira.

Latif Ssebaggala ye yasoose okulangirira ku Mmande nga bw'asazeewo okuddamu okuvuganya mu Kawempe North addemu akiikirire ekitundu ekyo, ng'agamba nti tasobola kuleka konsityuwensi etwalibwe omuntu omunafu ate nga ye aky'alina amaanyi agakiikirira abantu.

Charles Sserubiri om uku baafunye kaadi ya NUP ku kifo kya Kkansala e Kawempe yalaze okutya ng'agamba nti ku bantu 48 abaaweereddwa kaadi okuvuganya ku bwakkansala mu Kawempe, 45 bonna bawagira Kidandala era nti Ssegirinya alinako 3 bokka.

Kidandala yagambye nti naye yeewuunyizza engeri gye baamummye kaadi ne bagiwa Ssegirinya ate ng'obubonero bwonna bulaga nti y'akwatagana n'abantu abagenda okutuusa NUP ku buwanguzi.

Yagambye nti abaakoze okusalawo okwo beesigamye ku byabadde ku mikutu gya "social media", ky'atakkaanya nakyo kubanga ssi be balonzi b'e Kawempe.

Mu kusooka okuvuganya ku kifo kya Kawempe North kyaliko abantu basatu abavuganya ku kaadi ya NUP okuli; Ssegirinya, Kidandala ne Ssebaggala.

Oluvannyuma Ssebaggala yava mu lwokaano n'agenda ku kifo kya Loodi Meeya wa Kampala ate kye yasuddewo nga bamaze okumuwa kaadi n'addayo ku kya Kawempe North gy'akiikiridde okuva mu 2001.

Kigambibwa nti Ssebaggala mu kuva mu lwokaano yali asuubira Kidandala okuwangula kaadi eyo nti naye bwe baagiwadde Ssegirinya kwe kukuba enkyukira. Kidandala mu kunnyonnyola eggulo yagambye nti:

Waabaddewo obutali bwenkanya mu kugaba kaadi era bingi bye mmanyi ebyabaddewo naye ebyo saagala kubigendamu ku lw'obulungi bw'ekibiina era kye nsazeewo okukola kwe kuvuganya ku lwange ng'omuntu.

"Omusajja akoledde ekibiina eggwanga lyonna, ogamba otya nti sisobola kuwangula konsityuwensi mu kitundu kyange we nva ekya Kawempe North! Emivuyo gyonna egyakoleddwa nagitegedde era n'abakulu mu kibiina abaakibadde emabega nabategedde, naye nsazeewo ebyo bireme kunziggya ku mulamwa era nsazeewo kwesimbawo nga nze.

" Kidandala bwe yagambye. Bakkansala mu lukuhhaana lwabwe olw'enjawulo mwe baasisinkanidde bannamawulire baagambye nti abakulu bonna mu NUP beegabidde kaadi ku bifo bye baabadde baagala okuvuganyaako wabula kyabeewuunyisizza ate bwe baatuuse ku Kidandala ne batagimuwa nga bagamba nti talina buwagizi mu kibiina ate nga ye yayunga abantu ba Kawempe North ku NUP n'akyusa n'abo bonna abaali mu bibiina ebirala naddala aba DP ne beegatta ku kibiina.

ABA NUP BAANUKUDDE KIDANDALA

Joel Ssenyonyi omwogezi wa NUP yagambye nti Kawempe kye kimu ku bifo 19 ebyaliko embiranye ey'amaanyi era baawalirizibwa okusindikayo ttiimu ssatu ez'enjawulo okubuuza asinga obuwagizi wakati wa Kidandala ne Ssegirinya.

Ttiimu zonna nti zaavaayo n'ebintu ebifaanagana ebiraga nti Ssegirinya yali akulembedde Kidandala mu buwagizi era ku nkomerero kye beesigamako okuwa Ssegirinya kaadi.

Yagambye nti wadde mu kusooka abakulembeze mu kibiina baali baagala nnyo kaadi eweebwe mukulembeze munnaabwe Kidandala, wabula kyabakaluubiriza okusalawo mu ngeri ekoonagana n'abantu abali mu kitundu kye balowooza kubanga mu kukola ekyo baali bagenda kwawukana ku musingi ekibiina kwe kyazimbirwa ogw'amaanyi okuba nga gali mu bantu - "People Power".

Yagambye nti baabadde balowooza nti Kidandala ng'omutegesi omukulu mu NUP ekyo yali akitegedde, naye kati kye bagenda okukola kwe kusisinkana abo bonna abalina obusungu, ennyiike n'aboogera ebikankana olw'obutaweebwa kkaadi ya kibiina; boogereko nabo okulaba bwe bakolera awamu baleme kutemaatema mu bululu kubanga kijja kufiiriza ekibiina obuwanguzi.

SSEGIRINYA ASIIBYE ATALAAGA GHETTO

Bakkansala abawagira Kidandala baabadde bagenda mu maaso n'okuta akaka, nga Ssegirinya atalaaga bitundu by'e Kawempe North eby'omugotteko (Ghetto).

Ssegirinya obwedda abuuka emyala nga bw'aweereza obubaka ku mikutu gya "Social media" obulaga nti okuva lwe yaweereddwa kaadi ya NUP, yatandikiddewo okunoonya akalulu era bonna abajja waakubawangula abatamye akalulu.

Yagambye nti amaanyi ge gali mu bantu era abaagala okumuvuganya bagenda kukakasa kino mu 2021 ng'abantu bamaze okumulonda okubakiirira mu Palamenti.

BAKKANSALA E MAKINDYE NABO BASIMBYE EKKUULI

Ebitundu ebirala nga Makindye West nayo wakyaliyo okusika omugwa era abamu ku bakkansala abaaweereddwa kaadi za NUP nabo baatudde eggulo ne balaalika obutakola ne Allan Ssewannyana eyaweereddwa kaadi ya NUP ku kifo ky'omubaka wa Palamenti ky'abaddemu, nga bagamba nti baludde nga batuuyanira wamu ne Farouk Ntege (muganda wa Seya), kyokka Ssewannyana n'ajja ku ssaawa esembayo, n'aweebwa kaadi mu ngeri eyabeewuunyisizza.

Baawadde NUP essawa 48 okukyusa mu kye yasazeewo era bwe ziggwaako balangirire ekiddako. Kyokka Ntege teyalinze ssaawa ezo kuggwaako n'alangirira nga bw'agenda okuvuganya Ssewannyana ku lulwe ng'omuntu era asuubira okuwangula mu 2021.

Wabula bino Ssenyonyi yabisambazze n'akuyita kutiisatiisa.

ABAWANGUDDE KAADI BALABUDDE BANNAABWE

Mberaze (akutte akazindaaalo) eyakwasidwa kaadi ya NUP ku bwameeya w'e Lubaga. Kidanda

Mberaze (akutte akazindaaalo) eyakwasidwa kaadi ya NUP ku bwameeya w'e Lub

Kyokka bannakibiina kya NUP abakwasiddwa kaadi z'ekibiina mu Lubaga balabudde bannaabwe abataaweereddwa kaadi, okukomya okubatiisatiisa nti balina kye bayinza okukola ku buwanguzi bwabwe mu kalulu ka 2021.

Baabadde ku ofiisi z'ekibiina mu Lubaga e Kabuusu mu lukuhhaana olwetabiddwaamu abo bokka abaakwasiddwa kaadi y'ekibiina ku bifo okuli bakkansala ne meeya nga lwakubirizidwa Harunah Nsubuga ayakuliramu okusunsula mu Lubaga.

Nsubuga ategeezeza nti kaadi y'ekibiina yadde yali evuganyizibwa abantu abasukka mu omu naye yabadde erina kuweebwa muntu omu kubanga si ccapati nti bagiyuzaamu buli muntu afuneko ekitundu, n'asaba bannakibiina abataafunye kaadi okukkiriza ekyazze era ebyokukolokota bannaabwe abaafunye kaadi babiveeko babeegatteko balwanirire obuwanguzi bw'ekibiina nga bali kitole.

Baatongozezza kampeyini yaabwe gye baatuumye "Twebeereremu" ey'okulaba nga bawangula buli kifo mu Lubaga ng'eduumirwa Zachy Mawula Mberaze ayakwasiddwa kaadi ku kifo kya Meeya wa Lubaga.

Mberaze oluvannyuma yayanjulidde banne manifesto ye gye yagambye nti gy'agenda okukozesa okujja Nabossa Ssebuggwaawo gwe yayise omulimba mu ntebe.