Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision

ABABBI bakozesezza kompyuta ne bayingira mu tekinologiya asindika ssente ku Mobile Money mu Uganda ne banyaga buwumbi! Abantu abali ebweru w'eggwanga be baasoose okusanga obuzibu nga basindika ssente mu Uganda okuyita ku Mobile Money nga tezikyagenda.

Abamu baatuuse n'okuteebereza nti byandiba nga birimu ebyobufuzi okutuusa lwe baafunye obubaka obubategeeza nti waliwo ekizibu ekiri munda ekikyakolebwako.

Ab'enkola ya Sendwave n'aba kkampuni ya Pegasus Technologies kw'ossa amakampuni amalala agakozesebwa ennyo Bannayuganda okusindika ssente mu Uganda baagasseeko n'obubaka obwetonda olw'okutaataaganyizibwa bakasitooma baabwe kwe bayitamu, olw'enkola eyayimiriziddwa okumala ebbanga eritali ggere.

Oluvannyuma n'amakampuni agaweereza ssente emitala w'amayanja okuli Money Gram ne Western Union nago gaayimirizzaamu obuweereza bwabwe ku ssente ezijja n'okuva mu Uganda okuva ku Lwomukaaga nga October 3, 2020.

Obubbi obwakoleddwa, tebwakosezza bantu bali wabweru wa Uganda bokka wabula n'abagula Airtime nga bakozesa Mobile Money nabo baataataganyiziddwa naddala ku Lwomukaaga ne Ssande era bakira abamu beemulugunya nga bagamba nti, baabadde bagula Airtime ne batamufuna ate abamu nga bagamba nti yabadde atwala ekiseera kiwanvu okumufuna. ENGERI ABABBI GYE BABBYE SSENTE

Kigambibwa nti, ababbi baakozesezza tekinologiya ne bayingira mu byuma bya kkampuni ya Pegasus Technologies eyunga bbanka ku kkampuni z'amasimu mu kuweereza ssente okuva ku akawunti ya bbanka ne zigenda ku ssimu y'omuntu mu nkola ya Mobile Money.

Kkampuni eno y'emu ku zisinga okukozesebwa Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga mu kusindika ensimbi mu Uganda era buli mwaka bagiyisaamu ssente ezisukka mu buwumbi 1,000 ne zituuka ku bantu ab'enjawulo.

Kigambibwa nti ababbi baakozesezza omukisa gw'okuba nga kkampuni eno eyisibwamu ssente nnyingi ne bayingira mu tekinologiya waayo, ne basindika obutitimbe bw'ensimbi ku akawunti ezaateekeddwaawo abafere era ne baziggyayo ne bazitwala zonna ku Lwomukaaga.

Kigambibwa nti ababbi ab'ekika kino batera nnyo okukozesa Olwomukaaga ne Ssande okukola obunyazi buno kubanga abakozi abamu baba tebaakoze ate n'ebitongole ebimu ebyandirondodde biba byaggaddewo ku Lwakutaano.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, bannannyini kkampuni baaloopye omusango ku poliisi era abakugu mu kunoonyereza ku misango gy'okubbira ku yintanenti baatandise dda okunoonyereza.

Twine yagambye nti, kkampuni (gy'ataayatuukirizza) yabakkirizza okuyingira mu byuma byayo okwekenneenya ekyabaddewo, engeri ababbi gye baayingidde mu byuma bya kkampuni era bwe banaaba bamalirizza, bajja kusobola okuzuula obungi bwa ssente ezabbiddwa n'engeri gye kyakoleddwaamu era banoonyereze n'abaakibadde emabega.

Kkampuni egambibwa nti ye yabbiddwa eya Pegasus Technologies ekola mu bya tekinologiya naddala okutambuza ssente ku kompyuta era ebiwandiiko biraga nti, yawandiisibwa mu Uganda nga September 10, 2007 era emaze emyaka 13 ng'eweereza. Enkola y'obubbi obukolebwa ku yintanenti ne tekinologiya yeeyongedde nnyo mu ggwanga era lipoota ya poliisi eya 2019 eyafulumiziddwa mu May w'omwaka guno yalaga nti, ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kalamba n'ekitundu zabbibwa mu bbanka okuli DFCU ne Centenary.

Mu Centenary, babba obukadde 800 ate mu DFCU, lipooti eraga nti babbayo obukadde 438 mu bubbi obw'ekika kino.

MTN NE AIRTEL BYE BAKYUSIZZA MU MPEEREZA YAABWE

Ku lunaku lwennyini obunyazi obwo lwe bwabaddewo ku Lwomukaaga nga October 3, 2020, bbanka lwe zaayimirizza enkola y'okuweereza ssente okuva mu bbanka okugenda ku ssimu mu nkola ya Mobile Money ku MTN ne Airtel n'emikutu gy'essimu emirala.

Ekiwandiiko ekyateekeddwaako emikono esatu ogwa Anne Jjuuko akulira Stanbic, Wim Vanhelleputte akulira MTN ne VG Somasekhar akulira Airtel kisoma nti: Stanbic Bank Uganda, MTN Uganda ne Airtel Uganda bategeeza abantu bonna ne bakasitooma baabwe nti, ku Lwomukaaga nga October 3, 2020, kkampuni gye tukolagana nayo yafunyeemu okutaataaganyizibwa mu mpeereza yaayo ekyakosezza enkola y'okuggya ssente mu bbanka ne zigenda butereevu ku ssimu.

Ekiwandiiko kigattako nti: Enkola y'okuggya ssente mu bbanka ne ziweerezebwa ku ssimu (Mobile Money wallet) eyimiriziddwa bunnambiro okumala ekiseera ekitali kigere wabula kino, tekirina kye kyakosezza ku ssente ziri ku akawunti mu bbanka ne ku ssimu.

Okuva lwe baaweerezza ekiwandiiko kino, baagambye nti ttiimu zaabwe zikola buli ekisoboka okwekenneenya ekituufu ekyabaddewo era bagezaako okuzzaako empeereza eno mu bwangu.

Ku Mmande nga October 5, 2020 MTN ne Airtel zaafulumizza obubaka obulaga nga bwe bayimirizza okusindika ssente nga ziva ku MTN okudda ku Airtel oba okuva ku Airtel okudda ku MTN.

Kyokka baalaze nti okuweereza ssente okuva ku MTN okugenda ku MTN tekwataataaganyiziddwa era n'okusindika ssente nga ziva ku Airtel okudda ku Airtel kukyagenda mu maaso.

Akulira MTN mu Uganda, Vanhelleputte yagambye nti, beetondera bakasitooma baabwe olw'okutaataaganyizibwa kuno n'ategeeza nti bakola ekisoboka okuddayo mu mpeereza yaabwe eya bulijjo.

Akulira ebyensimbi mu Airtel, Amit Kumar yagambye Babbye buwumbi mu nkola ya Mobile Money Bakasitooma nga bali ku kayumba ka Mobile Money. Charles Twine nti, abakugu baabwe bakola ekisoboka okutereeza empeereza ya Mobile Money wakati waabwe ne MTN. Kyokka Kumar bwe yabuuziddwa ku bya kkampuni gye bakolagana nayo eyabbiddwaako ensimbi, yagambye nti ebyo talina ky'abyogerako.

BBANKA ENKULU ENNYONNYODDE

Omukwanaganya wa bbanka z'obusuubuzi ne bbanka enkulu, George Ssonko yagambye nti ekizibu ekyatuuseewo baakitegeddeko kubanga etteeka erifuga entambuza ya ssente ku ssimu erya July 2020 libawa obuyinza okuluhhamya kkampuni zonna ezikola omulimu guno.

Ssonko yagambye nti, aba MTN ne Airtel baabadde bagezaako okuzuula obuzibu we bwavudde oluvannyuma ne kizuulibwa nti, obuzibu bwabadde ku ludda lwa kkampuni endala gye bakolagana nayo.

"Kkampuni endala gye bakolagana nayo, bw'efuna obuzibu, kkampuni zombi zikosebwa y'ensonga lwaki kkampuni zaabadde zirina okusooka okuyimiriza empeereza ezimu." Ssonko bwe yategeezezza.