ABA NRM e Jinja bajaganya oluvannyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira Moses Batwala nga ssentebe wa LC 5 ng’ayiseemu tavuganyiziddwa
Donald Kiirya
Journalist @ New vision
ABA NRM e Jinja bajaganya oluvannyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira Moses Batwala nga ssentebe wa LC 5 ng’ayiseemu tavuganyiziddwa

ABA NRM e Jinja bajaganya oluvannyuma lw'akakiiko k'ebyokulonda okulangirira Moses Batwala nga ssentebe wa LC 5 ng'ayiseemu tavuganyiziddwa.

Okuwandiisa abeesimbyewo kwakomekkerezeddwa nga NRM yokka y'esimbyewo omuntu ku bwa ssentebe bwa LC 5 e Jinja ng'ebibiina ebirala okuli NUP, FDC, DP n'ebirala tebirina gwe biwandisizza ku kifo ekyo.

Batwala kati alindiridde okudda mu bigere bya Titus Kasimbira abadde mu kifo ekyo wabula nga yamuwangudde mu kamyufu ka NRM.

Kisambira yayozaayozeza Batwala kubanga ye Ssentebe wa LC 5 asoose mu byafaayo bya disitulikiti y'e Jinja okuyitamu nga tavuganyiziddwa.

ABA NUP TEBAMATIDDE

Omukwanaganya w'ekibiina kya NUP mu buvanjuba, Pasita Andrew Muwanguzi awakanyizza eky'okugamba nti NUP tekyataddewo muntu okuvuganya ku kifo kino.

Muwanguzi yategeezezza Bukedde ku ssimu nti baasimbyewo Dr. Menhya Iddi okuvuganya ku kifo kino wabula nti waabaddewo vvulugu eyakoleddwa aba NRM n'abakakiiko k'ebyokulonda mu kwewandiisa okuvuganya ku kifo ekyo e Kagoma.

Dr. Menhya owa NUP yategeezeza nti baafunye amawulire nti aba NRM bategeka kubalemesa okwewandiisa era bwebatyo ne bakeera ku kitebe kya disitulikiti y'e Jinja e Kagoma okwewandiisa.

Yategeezeza nti ab'ebyokulonda beekwasizza ensonga eziwerako nga bababuzaabuza nga muzino mwabaddemu eya kkompyuta okwecanga ne netiwaaka okubula. Dr. Menhya yayongeddeko nti akulira akakiiko k'ebyokulonda eyabaddewo mu kaseera ako, Moses Kagona yabagambye nti emikono gyabadde tegiggwaayo egimusemba okwewandiisa.

Era nti emikono egyabadde mu ggombolola ye Kakira gyabadde 10 gyokka kyokka nga ye yabadde asoloozezza emikono gyonna nga gisukka mu 250 okuva mu magombolola ataano 

Dr. Menhya yayongeddeko nti aba NRM baakoze effujjo ku kitebe e Kagoma era baakubye abamu ku bawagizi be okwabadde Umar Muyanja era yaddukidde ku Poliisi okumutaasa.

Yayongeddeko nti ne Alamanzani Balonde eyabadde azze okwewandiisa okuvuganya ku bwannamunigina naye yalemeseddwa okwewandiisa nga beekwasa nti ennamba y'emikono gye yabadde nagypo yabadde tewera.