ENKALU zeeyongedde ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Tororo.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision
ENKALU zeeyongedde ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Tororo.

ENKALU zeeyongedde ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Tororo.

We bwazibidde ng'ebiva mu kubala obululu bikyuse nga minisita Sarah Opendi eyali agudde akomyewo mu kibalo .

Opendi yavuganya ne Jacinta Othieno Ayo gwe baalangirira mu kusooka, Opendi ne yeekubira enduulu ne baddamu okubala obululu ku Lwokubiri, era we bwawungeeredde ng'ebiva mu kubala biraga nti Opendi akulembedde.

Kino kyatabude Ayo n'atuuka n'okulumiriza nti yabadde akitegedde nga waliwo abanene mu kibiina abaalagidde obululu bwe busazibwemu balangirire Opendi .

Bano basoose kuyitibwa mu kakiiko ka bannamateeka abassibwawo okwekenneenya ebivudde mu kulonda buli omu n'annyonnyola, bwe baamaze okuwuliriza enjuyi zombi ne basalawo okuddamu okubala obululu.

Omumyuka w'akulira akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda, John Arimpa Kigyagi yatangaazizza nti bannamateeka baabadde bakyalina bye beekenneenya nga n'okuddamu okubala obululu kyabadde kimu ku bye baabadde beetegereza.

Kigyagi era afulumiza enteekateeka ezigenda okugobererwa okulonda kw'obubondo okuli abavubuka, abakadde, abaliko obulemu n'abakozi, bagenda kutandika n'okutimba enkalala z'abalonzi olwaleero nga kino kyakumala ennaku bbiri ku bitebe bya NRM ebya distulikitti .

Abavubuka n'abakadde bakulonda nga basimba mu mugongo ate abakozi baakulonda mu ngeri ey'okuwandiika amannya nga bwe kyali mu kulonda kwa CEC, abaliko obulemu bakukozesa kinkumu oba okugolola kw'abo abeesimbyewo.

Okulonda kuno kwonna kwakuberawo ku nkomerero ya wiiki nga October 10, 2020.