OMUSAJJA ow’omutawaana agambibwa okutta mukazi we e Kyaliwajjala ku Lwomukaaga omulambo n’agusibira mu nnyumba n’adduka abatuuze bamukutte ayingidde ennyumba y’omutuuze okubba.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision
OMUSAJJA ow’omutawaana agambibwa okutta mukazi we e Kyaliwajjala ku Lwomukaaga omulambo n’agusibira mu nnyumba n’adduka abatuuze bamukutte ayingidde ennyumba y’omutuuze okubba.

OMUSAJJA ow'omutawaana agambibwa okutta mukazi we e Kyaliwajjala ku Lwomukaaga omulambo n'agusibira mu nnyumba n'adduka abatuuze bamukutte ayingidde ennyumba y'omutuuze okubba.

Regan Senkosi agambibwa okutta muganzi we, Gabeya

Reagan Senkosi 25, oluusi eyeeyita Gerald Kabanzi ate olulala ne yeeyita Ronald Ssentongo oba Ssekyanzi ate ng'abamu babadde baamukazaako lya My Phone baamukutte ku Mmande ekiro e Kamwokya mu maka g'omutuuze omu.

Ono aba CMI baabadde bamulinnya kagere oluvannyuma lw'okuteeka essimu ye mu byuma byabwe ne balaba wonna we yabadde ayise nga basinziira ku mirogooti gy'essimu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti, omukyala Senkosi gwe yayingiridde ye yakubye enduulu eyasombodde batuuze banne ne bamukwata ne bamukuba.

Ono, yalabye emiggo gimutta n'alaajana nti, "bannange temutta, mbadde noonya we nneekweka poliisi enjigga nasse mukazi wange e Kyaliwajjala."

Engeri amawulire gye gaabadde gasaasaanye ennyo, abatuuze bwe baamwetegerezza nga bamumanyi ne bakubira poliisi ya Kira Road eyamunonye ng'eri wamu n'abajaasi ba CMI.

Owoyesigyire yagambye nti, baasoose kumutwala ku poliisi ya Kira Road we baamuggye ne bamwongerayo ku poliisi y'e Kira awali ffayiro CRB 533/2020 ey'omusango gw'obutemu gwe yazzizza.

Ono, kigambibwa nti, ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, yasse mukazi we, Norah Gabeya, 22, abadde olubuto olukulu omulambo n'aguggalira mu nju ng'atumbudde leediyo okulowoozesa abantu nti, munda mwabaddemu omuntu.

Kyokka baliraanwa n'abantu abakolera mu kitundu abaakulembeddwa, Dan Kisuule, beekengedde edduuka okuba nga lyabadde limaze olunaku lulamba nga terigguddwa ekintu ekitabangawo ne batemya ku poliisi era baagenze okumenya ekkufulu, omulambo gwa Gabeya baagusanze ku buliri nga guzingiddwa mu ssuuka.