ARON Siribaleka aludde nga yeeyita ‘Bishop' olw'ebyambalo by'eddiini by'ayambala n'afera abazadde ng'abasuubizza bassale z'abaana baabwe gamumyukidde mu kkooti nga bamusomera emisango egy'okufera ssente ezisoba mu bbiriyooni.
Alice Namutebi
Journalist @ New vision

Siribaleka yavunaaniddwa emisango 6 egy'okufuna ssente ezisoba mu kawumbi ng'abakubye akalimi nga bw'agenda okubakwatizaako okuweerera abaana baabwe.

Okusinziira ku mpaaba ya kkooti, Siribaleka yatandikawo kkampuni ya YVCO Alliance Africa ng'ekigendererwa kyayo kya kuyamba bateesobola n'abaana nga muno mw'abadde ayita okubba abantu ng'amakanda yagakuba Bweyogerere.

Emisango egyamusomeddwa kigambibwa yagizza n'omusumba w'ekkanisa y'abalokole eya Freedom Covenant Cathedral e Nansana, Jude Kalanzi. Be yafera bamulumirizza okubasuubiza okubayambako okuweerera abaana ng'akakwakulizo kakusooka kubaako mutemwa gwa ssente gwe baasasula kyokka n'atayamba baana baabwe.

Kigambibwa nti yafera Ilaleit Beatrice ssente 488,263,000 , n'afera Fred Munale obukadde 386, Harriet Agaba obukadde 15, Marina Kachwamango obukadde 169 nga bonna abalimbye okuweerera abaana. Emisango yagyegaanye era guddamu nga October 23, 2020.