Ekibumbe ky'ezzike ekya KCCA ekiwemmense obukadde 400 kitongozeddwa.
Hannington Nkalubo
Journalist @ New vision
Ekibumbe ky'ezzike ekya KCCA ekiwemmense obukadde 400 kitongozeddwa.

Loodi Mmeeya Erias Lukwago ne dayirekita wa Kampala Dorothy Kisaka batongozza enkola empya ey'okutumbula ebyobulambuzi mu kibuga nga basikiriza bannansi okwettanira okumanya ebyafaayo by'eggwanga lyabwe n'entandikwa y'ekibuga ekikulu Kampala.

Lukwago yagambye nti ekibuga kiriko ebyafaayo bingi nga bitandikira ku nsolo n'obusozi omusanvu kwe kitudde. "Kabaka yavanga mu Lubiri okuyigga ensolo eziyitibwa empala nga nnyingi mu kibuga kino. Olw'okuba ensolo zaalinga nnyingi mu kibuga nga kikyali kibira ekikwafu ekyekwekangamu ensolo ez'enjawulo naddala empala, abaatusookawo kwe kukituuma Kampala nga kiva mu nsolo eziyitibwa empala era tugibumbye okugiraga abantu nga bw'efaanana", Lukwago bwe yagambye.

Yalaze nti babadde bateekwa okukola ekibumbe ky'ensolo empala okumanyisa abantu bw'efaanana n'okulaga ekibuga gye kivudde nti lyali ttale n'ekibira ekyalimu ensolo ez'enjawulo era bannansi basaana bakimanye nti ekibuga kyonna Bassekabaka ba Buganda mwe baayigganga ensolo.

KCCA yakoze ebibumbe bibiri okuli eky'ensolo empala kye yatadde mu kibangirizi ekisangibwa ku Jubilee House etunudde mu Palamenti n'ekirala eky'ezzike kye yatadde ku Collins House okumpi ne Speke Hotel.

Omukolo gwabaddeko abakungu okuva mu kitongole ekya Uganda Wild Life Authority, Uganda Tourism Board n'abaavudde mu Jubilee House n'abalala.

Dayirekita wa Kampala Dorothy Kisaka yagambye nti, abantu bateekwa okumanya ekibuga gye kivudde n'okulaga eggwanga nti bannansi basaanidde okwenyigira mu bulambuzi nga bamanya ebisolo ebiri mu ggwanga lyabwe.

Yagambye nti bagenda kwongera okutegeka ekibuga okukyagazisa Bannakampalan'okwettanira obulambuzi. Kkanso yayisa obukadde 400 okubumba ebibumbe bino.