TOP
  • Home
  • Agookya
  • Nnannyini bbaala ya Nexus e Najjeera afudde Corona

Nnannyini bbaala ya Nexus e Najjeera afudde Corona

Added 9th October 2020

Omugagga Kakooza

Omugagga Kakooza

Abafamire n'emikwano bagenze ku bbaala ey'amaanyi eyitibwa Nexus esangibwa e Najjeera okukungubagira abadde nnannyini yo Ivan Kakooza.

Kigambibwa nti Kakooza yafudde Corona oluvannyuma lw'okuddusibwa mu ddwaaliro e Mulago ng'ali bubi.

Isaac Rucci abadde mukwano gwa Kakooza nfanfe yategeezezza nti yamukubira essimu n'amutegeeza nga bwe yali tawulira bulungi.

Rucci agamba nti yamuwa amagezi agende akeberwe Corona era nti oluvannyuma kyazuulwa nti yalina ssennyiga ono omukambwe.

Agamba nti Kakooza abadde ku byuma ebiwanirira amawugwe okussa okumala ennaku 14 kyokka ng' ayogera bulungi era nti yeewuunyizza okumutegeeza nti yabadde afudde.

Rucci agambye nti eby'okuziika bakyalinda kulungamizibwa minisitule y'ebyobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.