“WADDE nkyalumizibwa naye kati ndabikako mu bantu oli bw’andaba n’ampita omuntu ategeera,” bwatyo omuyimbi Sarah Kemirembe amanyiddwa nga Kemi Sera bwe yatandise ng’alombojja embeera ey’obulumi gy’abadde ayitamu eyamutuusa ne kussa ly’abantu abamu okulowooza nti agudde eddalu.
Martin Ndijjo
Journalist @ New vision
“WADDE nkyalumizibwa naye kati ndabikako mu bantu oli bw’andaba n’ampita omuntu ategeera,” bwatyo omuyimbi Sarah Kemirembe amanyiddwa nga Kemi Sera bwe yatandise ng’alombojja embeera ey’obulumi gy’abadde ayitamu eyamutuusa ne kussa ly’abantu abamu okulowooza nti agudde eddalu.

"WADDE nkyalumizibwa naye kati ndabikako mu bantu oli bw'andaba n'ampita omuntu ategeera," bwatyo omuyimbi Sarah Kemirembe amanyiddwa nga Kemi Sera bwe yatandise ng'alombojja embeera ey'obulumi gy'abadde ayitamu eyamutuusa ne kussa ly'abantu abamu okulowooza nti agudde eddalu.

Kemi Sera eyali muninkini wa Hajji Haruna Mubiru Kitooke yakaabizza abantu bwe yabadde attottola ebizibu ebyali bimuzimbyeko akayumba era wakati mu situleesi n'okusoberwa yatandika n'okwekola ebintu ebitategeerekeka omwali okwerogozza n'obusolosolo obulala abamu kye baayita okugwa eddalu.

"N'okutuusa kati nkyebuuza ekyantuukako kuba nayita mu kugezesebwa kungi ne banjogerera ne nswala.

Baatuuka n'okunzizza ewaffe mu kyalo nga bazadde bange sikyabategeera nabo nga basobeddwa tebategeera kintuuseeko.

Naye neebaza Mukama nze ani Katonda gwe yayambye n'awoona.

Ekitiibwa n'ettendo bimuddire era ndayira okuva ne leero sigenda kuva ku Katonda kuba nkizudde ye ddagala ly'abazitoowereddwa ng'anze" Bino byonna obwedda abyogera wakati mu kukulukusa amaziga n'okutendereza Katonda era oluvannyuma yategeezezza nga bwe yasazeewo okulokoka era wano yayimbyemu oluyimba lwe olupya olutendereza Katonda lw'agamba nti lwe yamukoledde okumwebaza.

Yagasseeko nti, kati amaanyi agenda kugateeka mu kuyiiya nnyimba za ddiini mw'agenda okuyisa obubaka obubuulira abantu abalala.

Mu June w'omwaka guno, Kemi Sera embeera yamutabukako bwe Kemi Sera akaabidde ewa Pasita Bugembe ng'attottola by'ayiseemu yali yaakaawukana ne Hajji Haruna abantu abamu ne bakiteeka ku situleesi ya laavu okumutabula kyokka ono bwe yabuuziddwa oba ddala obuzibu bwava ku kwawukana ne Haruna yagaanye okukyogerako ng'agamba takyayagala kugattika mboozi ya Haruna mu nsonga ze.

Ku Ssande yagenze ewa Pasita Bugembe gye baasooka okumuddusa ng'ali bubi n'ayogera okumusabira n'okumubudaabuda era ono yamusabye anywerere ku Katonda tajja kwejjusa.