BWE nali nvubuka, nalabanga abaagalana nga mbeegombesa okutuusa lwe nafuna omuntu wange gwe neesiimidde.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision
BWE nali nvubuka, nalabanga abaagalana nga mbeegombesa okutuusa lwe nafuna omuntu wange gwe neesiimidde.

BWE nali nvubuka, nalabanga abaagalana nga mbeegombesa okutuusa lwe nafuna omuntu wange gwe neesiimidde.

Nze Kenneth Mutagubya, mbeera Kibuye mu Kampala.

Mu 2012 nali nkolera mu katale ka Owino gye nasisinkana mwana muwala eyanyirira okuzaama. Olwamukubako eriiso omutima ne gumusiima era ne ntandikirawo okumusuula obugambo. Omuwala ono naye yali akolera mu katale ke kamu.

Nnamwesibako nga njagala muwase mangu baleme kumunsooka kubanga nnali mulabyemu essuubi. Mu wiiki nga bbiri nali mmaze okumuwangula era okukkakkana ng'ali waka antokoseza ttooke.

Twatambuza bulungi omukwano gwaffe wadde era obulamu tebubulamu bisoomooza. Nze kye nasooka okuzuula ku mukwano nti temusobola kuwangaala nga mwenna mwewulira eryanyi wabula walina okubeerawo omukwatampola oba omukkakkamu. Mu bbanga ery'emyaka omunaana lye naakamala naye, tanobangako newankubadde oluusi wabeerawo obutakkaanya ku nsonga ezimu naye tubugonjoola.

Ebimu ku bye nsinze okwenyumiriza mu mukyala wange yakyusa embeera zange okuva lwe nnamufuna ate yampa n'ekitiibwa kya taata era nga wenjogerera tulina abaana babiri. Okumanya mukyala wange akyusizza ebintu, nze eyali yeeyoleza n'okufumba ebyo byonna yabinneerabiza.

Abakyala abasinga kasita akulaba nga enfuna yo si nnungi nga beecanga oba nga beekwasa obusongasonga ne banoba naye owange wadde embeera si ya ssente nnyingi naye akyaliwo.

Nkubiriza abavubuka nga tebannawasa okusooka okweteekateeka obulungi bafunewo ku ssente ne bwe zitaba nnyingi naye nga zisobola okubabeezaawo kubanga tewali mukwano guyinza kuwangaala nga temuli ssente kubanga n'omukazi bayinza okumukubbako