TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kassim Buyondo Maneja wa Express ow'ebikopo n'effujjo

Kassim Buyondo Maneja wa Express ow'ebikopo n'effujjo

Added 14th October 2020

EXPRESS FC eyatandikibwawo omugenzi Jolly Joe Kiwanuka mu 1959 ebadde n'abasajja ab’amaanyi.

Kassim Buyondo

Kassim Buyondo

EXPRESS FC eyatandikibwawo omugenzi Jolly Joe Kiwanuka mu 1959 ebadde n'abasajja ab'amaanyi.

Abaludde mu mupiira gwa Uganda kizibu okwerabira Kassim Buyondo, eyali maneja wa Express wakati wa 1991 ne 2004.

Yazaalibwa Abbas Ddamulira ne Hajati Amina Nampiima e Kibinge, Masaka mu 1954.

Yasomera Kiryassaaka P/S, St. Johns SS, Nandere ne Nakasero SS gye yakomya emisomo mu S4 n'atandika obusuubuzi mu 1973.

Wadde Buyondo yakola erinnya mu mupiira gwa Uganda, okuguzannya yagukomya mu ssomero.

ATANDIKA OKUWAGIRA OMUPIIRA

Buyondo yakulira Katwe awaabeeranga abantu omuwali n'eyali ssita Mubiru Tanka (bwe baasomanga e Nandere) abaamusikiriza okuwagira Express. Wabula mu 1977, eyali Gavana wa Kampala Province, Abdallah Nasur yawera Express abakulembeze baayo ne baddukira e Kenya ekyannyogoza Buyondo ne yeeyama obutawagira kiraabu ndala.

Mu 1978, Buyondo ne Hajji Erias Musoke baagunjawo ttiimu ya Fans International FC e Makindye. Mu 1979 nga Idi Amin avuunikiddwa, Express yakomawo era mu baasooka okugidduukirira yali Buyondo bwe yabatonera emijoozi era n'alondebwa ku kakiiko akaddukanya ttiimu.

Mu 1980, Buyondo yayingira DP n'alondebwa okukulira abavubuka mu Kampala naye kyamuleetera obuzibu bwe yaggalirwa basajja ba Obote. Mu 1986, Buyondo yakomawo ng'ayambibwako eyali omukulembeze wa Express FC mu kiseera ekyo, Sam Njuba.

AWEEBWA EKIFO

Mu October wa 1990, waaliwo okujjuza ebifo by'abakungu ba Express 2; Patrick Kiwanuka ne Edward Mugerwa (maneja) abaafiira mu kabenje.

Vincent Bbaale Mugera yalya obwassentebe, Hajji Abdul Kasujja eyali amezze Buyondo ku bwamaneja, n'akakibwa okusulawo ekifo ne bakiwa Buyondo nga bamusiima obuwagizi bw'alaze ttiimu.

Mu 1991, Express yasitukira mu Uganda Cup bwe yawutttula Nile FC (4-1).

Ekikopo kino Buyondo kye yasookerako nga maneja era mu 1992 n'ekyeddiza.

Mu 1993, Express FC yeggyako ekikwa ky'emyaka 18 nga tewangula liigi n'ewangula ne Idd Cup, Independence Cup, Kabaka Cup ne Super Cup mu mwaka gumu. Mu 1994, baawangula Uganda Cup wadde liigi tebaagyeddiza.

ASIIWUUKA EMPISA

Wabula mu 1994, Buyondo n'eyali omuzibizi wa Express, Godfrey Nyola baakwata ddiifiri Ali Waiswa amataayi nga Coffee ebamezze (3-2) e Wankulukuku, Buyondo n'asibwa omwaka mulamba oluvannyuma ekyakendeezebwa.

Mu 1993, Express yasitukira mu liigi ne Uganda Cup era bangi obuwanguzi baabussa ku Buyondo.

Mu 1996, waabalukawo obutakkaanya wakati wa Buyondo n'omumyuka we Erias 'Kamudaasi' Serunjogi, ne Robert Ssawa eyali omuwandiisi ng'abalumiriza okutabula ttiimu.

Enjawukana zino kigambibwa nti ze zaaviirako ssentebe Vincent Bbaale Mugera okulekulira mu 1997 n'asikizibwa Meddie Ssebaggala era okujja kwe (Ssebaggala) kwalimu omukono gwa Buyondo.

ADDAMU OKUKALIGIBWA

Mu May wa 1997, ensiike ya Express ne Villa e Wankulukuku, Buyondo yayingira ekisaawe n'agwa ddiifiri Stephen Muleyi mu malaka olw'okusala ggoolo ya Zazak Lingaya ekyaviirako omupiira okuyiika FUFA n'emukaliga mwaka.

Kino kyatabula Ssebaggala n'agoba Buyondo naye abawagizi baamuwaliriza okumuzza mu 1998.

Mu 2001, abawagizi ba Express baasonga olunwe mu Buyondo nti alya mu lulime ne mu luzise olw'abazannyi Maurice Sunguti ne Saidi Abedi okuva mu ttiimu. Mu 2002, Buyondo agambibwa okukulemberamu abawagizi okuyiwa omupiira wakati wa SCOUL FC ne Express era

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.