TOP

Mamelodi ekansizza Watenga

Added 14th October 2020

ETTUTUMU n'omutindo Denis Onyango byalagidde e South Afrika biwalirizza ttiimu ye, Mamelodi Sundowns okukansa 'muto we' Ismail Watenga. Watenga, eyakwatirako Vipers ne Cranes, abadde talina ttiimu oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne Sofapaka ey'e Kenya nga kigambibwa Onyango ye yamwogeredde ewa bakama be ne bamugula

 

ETTUTUMU n'omutindo Denis Onyango byalagidde e South Afrika biwalirizza ttiimu ye, Mamelodi Sundowns okukansa 'muto we' Ismail Watenga.

Watenga, eyakwatirako Vipers ne Cranes, abadde talina ttiimu oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne Sofapaka ey'e Kenya nga kigambibwa Onyango ye yamwogeredde ewa bakama be ne bamugula.

Yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu wabula nga waakusooka kwazikibwa mu Maritzburg United olw'okuba Onyango ne Kennedy Mweene owa Zambia bamusingako.

Watenga ye Munnayuganda ow'e 17 okwegatta ku ttiimu z'e South Afrika okuva Timothy Batabaire lwe yeegatta ku Bloemfontein Celtic mu 2004.

Mu kaseera kano, liigi y'e South Afrika erimu Bannayunda basatu okuli; Moses Waiswa (Orlando Pirates), Onyango ne Watenga.

OKWAZIKA WATENGA KITEGEEZA KI?

Onyango nga yaakava mu St George eya Ethiopia mu okugenda mu Super- Sport United mu 2006, naye tebyasooka kumutambulira bulungi bwe baamwazika mu Mpumalanga Black Aces. Mu 2011, Mamelodi yamugula era n'emwazika mu Bidvest Wits. Mu sizoni ya 2014/15, Onyango yakomawo n'ayaka era ebikopo bye bawangudde byonna abirinamu omukono.

Mu 2016, yalondebwa ku ky'obuzannyi bw'omwaka mu South Afrika.

Ebyafaayo bino biyinza okuyamba ku Watenga naye okufuuka ggoolokipa ow'amaanyi. BANNAYUGANDA ABAYASE E S.AFRIKA Posnet Omwony; Yakwatira Bloemfontein Celtic, Black Leopards, Vasco da Gama ne Black Leopards.

David Obua (Kaizer Chiefs 2005- 2008); Mu sizoni ya 2005/06, yali azannya nnamba 3 ne 11 n'alondebwa ng'omuzannyi wa Kaizer Chiefs ow'omwaka.

Baawangula Telkom Knockout Cup.

Eno gye yava okugenda mu Hearts eya Scotland.

Timothy Batabaire; Yazannyira ttiimu nnya okuli; Bloemfontein Celtic era yaliko kapiteeni waayo, Bidvest Wits, Vasco da Gama ne Garankuwa United n'awangula ebikopo eby'enjawulo. Geoffrrey Massa; Yazannyirako mu Jomo Cosmos mu 2007, University of Pretoria, Bloemfontein Celtic ne Baroka United.

ABATAYASE NNYO;

l Allan Kateregga - (Cape Town City) l Boban Zirintusa (Polokwane City) l Geoffrey Serunkuuma (Bloemfontein Celtic, Bidvest Wits, Vasco da Gama ne Buildcon).

Zonna yazizannyira emipiira 42.

l Godfrey Walusimbi, Ivan Bukenya ne Sula Matovu 'Malouda' (Kaiser Chiefs) l Yasser Mugerwa ne Moses Waiswa (Orlando Pirates)

l Hamis Diego Kizza (Free State Stars) l Brian Umony (SuperSport United) ne Hassan Wasswa (FC Cape Town

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.