Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision

EJJANA gwe musaala oba empeera buli mukkiriza gy'asuubira okufuna ku lunaku lw'enkomerero.

Kyokka olw'okuba kizibu okumanya Allah buli omu lw'anaamusisinkana, kitukakatako okukola obulungi okusobola okufuna ejjana nga bino bye bimu ku byo.

Era ku bintu omukkiriza by'alina okukola okwetegekera ejjana, Sheikh Abdulmagid Zizinga omukulu w'ettwale ly'e Nakifuma abirambika bwati. 

Okwetegekera okufa n'okwewala ebinyiiza Allah; Nabbi Muhammad yagamba nti, oyo akolerera okufa yooyo akolerera ebiribeerawo ng'afudde.

Omuntu bw'ofa osigaza ebintu bisatu ebikweyimirira okuli saddaaka ekulukuta, okuzimba amasomero n'emizikiti, okusimba emiti gy'ebibala, okulaba nga by'osomesa bigasa abantu ate ne babifunamu, okuteekateeka omwana omulongoofu anaakusabira ng'ofudde n'okukola ekirungi.

Ebyo bw'ogabana ng'ofudde.

Okutya Allah; Kikuyamba okukwatirwa ensonyi Allah singa obaako ky'ogenda okukola.

Tolina kukola ‘bandabe' wabula olina kukola ku lwa Allah.

Eswala bw'etuuka, togirinza oba okulinda okusaala ‘bandabe'.

Ekirala olina okwewala okumugattika.

Okuyunga Oluganda; Mu surat Nahari (16-90), Allah atulagira okubeera n'obwenkanya, okweyisa obulungi n'okuyunga oluganda. Bino bye bimu ku bijja okutuyamba okuyingira ejjana kuba Allah akolimira nnyo oyo akutulawo oluganda.

Okukuuma olulimi lwo; Mu hadith za Nabbi Muhammad (S.A.W) nnyingi yatugamba nti, omuntu omugezi omulabira ku kwogera bigambo bitono. Era nti olulimi n'obwereere bw'abantu bye bigenda okusinga okuyingiza abantu omuliro.

Kale kikukakatako okufuga olulimi lwo nga weewala ebigambo ebiyinza okukuyingiza omuliro.

Okubiriza abantu okukola ekirungi nga mwe muli okusaala, okusaddaaka n'okuyamba abanaku n'ebirala.

Ebyo byonna obeera weetegekera kuyingira jjana.

Okubeera n'ekisa; Mu mbeera yonna, osobola okubaako Sheikh Abdul Magid Zizinga.

mukwano gwo n'okutangira okwogera kyonna ekiyinza okunyiiza munno ne kimalawo enkolagana wakati wammwe kale oteekeddwa okubeera ow'ekisa okusobola okuyamba ku balala.

Okutangira ekibi eri abantu; Osobola okubakubiriza obutayomba n'obabudaabuda n'embeera eziyinza okuvaako okusubwa ejjana.

Okukuuma omulirwano nga mulungi. Mu hadith za Nabbi Muhammad (S.A.W) yatugamba nti kyetaagisa okuyisa obulungi omuliraano kuba ye muganda wo asooka.

Mu mbeera yonna osaanye okumuyisa obulungi.

Okumatira Allah ky'akuwadde singa tomatira ne Allah akussaako obusungu bwe n'akuggyako okusaasira kwe n'oyingira omuliro. 

Okusiiba; Osobola okusiiba omwezi gwa Ramadhan ogukakatako n'ofuna empeera kyokka waliyo okusiiba kwa sunnah mw'ofunira empeera okuli okusiiba ku Mmande n'Olwokuna kyokka mu byonna tugendereramu Allah akutusonyiwa kuba empeera z'okusiiba Allah.

MANYA BINO MU BUSIRAAMU

Abasiraamu abaasooka baali ba Ottoman nga mu 1700 abaali bafuga Misiri. 

Abafuzi ba Misiri ne Sudan bajja bagoba omugga Nile nga bayita mu mambuka nga mu 1800.

Abawalabu abasuubuzi bajja banoonya baddu na masanga ne batuula mu West Nile. 

Karamoja baagiyunga ku Mombasa okutuusa Ethiopia nayo n'ereeta Abawalabu. 

Kabaleega yakwatagana n'Abawarabu Abasudan okuva e Khartoum be batuula mu Kinnubi. 

Ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna II, Abawalabu abasuubuzi bajja mu 1844.

Bano baali Ahmed Bin Ibrahim

EBIKULU MU KUJJA KW'OBUSIRAAMU MU UGANDA

Bano baali Ahmed Bin Ibrahim ne Snay Amir nga bava Tanzania.

Ebibinja by'abawarabu abasuubuzi byajja mu Uganda nga Isa Bin Hussein okusuubula.

Obusiraamu bwasooka mu mambuka (Northern), Bunyoro, Busoga oluvannyuma Buganda.

Bikuhhaanyiziddwa Sheikh Hassan Wasswa - 0700252090.

‘Musomese abaana eddiini' Sheikh Muhammad Kigozi; Nkubiriza Abasiraamu okubeera n'empisa ate bafube okusoma n'okumanya eddiini yaabwe.

Sheikh Ishaka Mukisa; Nkubiriza Abasiraamu okusomesa abaana baabwe mu masomero agalimu eddiini bamanyi eddini yaabwe.

Saziri Lumala, Khadh w'e Mukono; Okukolerera ejjana kyetaagisa obutabeera na mululu.

Kino kyandibadde kirungi Abasiraamu okufuba okuyiga eddiini yaabwe n'okwongera okugitegeera kuba Allah ky'ayagala.

By'olina okukola okusobola okwetegekera ejjana Omulangira Nakibinge (ku ddyo) Supreme Mufti Sirimaani Kasule Ndirangwa n'abalala nga baakamaliriza okusaala.