NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw’okunzaalamu abalongo. Ennyumba mw’atusudde epangisibwa era landiroodi atulaalise okutugoba olw’ebbanja lye.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision
NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw’okunzaalamu abalongo. Ennyumba mw’atusudde epangisibwa era landiroodi atulaalise okutugoba olw’ebbanja lye.

NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw'okunzaalamu abalongo. Ennyumba mw'atusudde epangisibwa era landiroodi atulaalise okutugoba olw'ebbanja lye. Namusisinkana mu 2015.

Ebiseera ebyo nnali nkyasoma byamikono e Ntebe. Yannemerako okumala ebbanga nange kwe kumussaako akakwakkulzzo k'okukyala mu bakadde bange bamulabe tulyoke twagalane.

Omusajja oyo okumanya yali mumalirivu, yagendanga e Luweero gye nnali mbeera buli ku nkomerero ya ttaamu n'ankyalira kyokka bo abakadde teyabatuukangako nga yeekwasa nga bw'atannafuna busobozi kubatuukirira.

Ebbanga ery'emyezi etaano bwe lyayitawo natengulwa omutima ne tutandika okwagalana naye ng'okumusisinkana mukyalira bukyalizi. Nafuna olubuto kyokka bwe namutegeeza ne yeecanga ng'ayagala nduggyemu.

Abasawo bantegeeza mu ddwaaliro nti olubuto lwa balongo. Embeera yantabukira ku mulimu e Gaba gye nali nkolera ogw'okutunda dduuka ne nsalawo okuddayo mu kyalo. Ekiseera ky'okuzaala bwe kyatuuka, abasawo bansaba nkomewo e Kampala gye mba nzaalira era kyannyamba kubanga omulongo omu baamunnongoosaamu bulongoosa.

Ssaalongo oluvannyuma lw'okuzaala teyaddamu kundaga mukwano ne tutandika okuyombagananga okukkakkana ng'atusudde mu muzigo e Kawaala.

Kati simanyi waakutandikira kubanga abazirakisa be bannyamba okumpa ku ky'okulya n'amata g'abaana naye landiroodi buli kadde atulaalika okutugoba olw'obutamusasula.

Nsaba abasomi ba Bukedde okumpa ku buyambi ne ku magezi ndi ku ssimu