
Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.
Raymond Steven Sekitayira abadde agenda okwanjulibwa mukazi we Joy Nekesa, ku Lwomukaaga luno, afudde oluvannyuma lw'okuseerera n'agwa wansi nga talwadde!
Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze okumutuuka ku bwongo era tamazeewo ssaawa ziwera n'afa!
\
Joy Nekesa (mu bifaananyi) y'abadde agenda okumwanjula mu bakadde be ku Lwomukaaga lwa wiiki eno.
Kigambibwa nti oluvannyuma lw'okwanjula, omugenzi abadde asuubirwa okugattibwa ne mukazi we mu bbanga lya wiiki emu.