Dickson Kulumba, Lawrence Mukasa ne Patrick Kibirango
Journalist @ New vision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba
b'Abalokole okukomya okwerumaaluma.

Yabadde agenze okukubagiza abagoberezi ba Pasita Augustine Yiga Mbizzaayo e
Kawaala.

Mayiga yabasabye, okweyogerera amafukuule n'okwerangira mu Basumba babikomye kubanga tekiriimu kalungi konna.

"Mpulira nnyo okuyombagana n'okweyogerera ebisongovu mu Basumba b'Abalokole abamu. Ebigambo ebyo abantu babitaputa mu ngeri ndala noolwekyo, buli muntu yandibadde awa munne ekitiibwa n'ekkanisa okutwalira awamu," Mayiga bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, Abasumba b'Abalokole bandibadde bakoppa enkolagana wakati
w'Eklezia, Ekkanisa ya Uganda n'Obusiraamu abakulembeze gye baaniriza buli abakyalidde okuva mu nzikiriza endala n'agamba nti, kino kijja kubayamba okunyweza
obumu wamu n'okusitula embeera z'abagoberezi mu bulamu obwabulijjo.

Yatenderezza Yiga olw'okwagala Obwakabaka nga mu kiseera ky'okukungaanya ettofaali, Yiga yamuwandiikira ng'amusaba okukyalako ku kkanisa ye era yagambye nti,
bwe yali mu Lubaga North nga September 7, 2014, yatuukako ku kkanisa ya Yiga n'amutikka ettoffaali ezzito n'ebirabo ebirala.

Mayiga yawerekeddwako omwogezi w'Obwakabaka, Noah Kiyimba n'ayanirizibwa Omwami wa Kabaka mu ssaza ly'e Kyaddondo, Agnes Nakibirige Ssempa
ne Pasita Andrew Jjengo mutabani wa Yiga.

Mayiga yagambye nti, olw'ebirungi Yiga by'akoledde Obwakabaka, baabadde balina
okukungubagira awamu n'abagoberezi n'agattako nti, ssente ezaazimba Masengere
ne bbugwe ku Masiro e Kasubi, balinako ettoffaali ddene.

" Pr. Yiga kyakulabirako nti bw'omalirira ne wekwata Katonda, otuuka ku birungi. Omwoyo guno gwe twagala naddala mu bavubuka. Jjengo wadde oli Pasita sigaza
omwoyo gwa Buganda ogutafa.Oli muzzukkulu wa Nsamba, weddira Ngabi, Kabaka kitaawo, ekyo tokyerabiranga," Mayiga bwe yayogedde.

Katikkiro olwavuddeyo, omusumba w'ekkanisa ya Lubaga Miracle Center Cathedral, Robert Kayanja ne mukyala we Jessica Kayanja ne bayingirawo mu bukuumi
obw'amaanyi.

Zaabadde zikoona ssaawa 4:00 ez'ekiro era baayaniriziddwa Jjengo n'amuyingiza mu kkanisa gye yayogeredde eri abakungubazi.

Kayanja yakubirizza abagoberezi ba Yiga okunywerera mu kkanisa wadde ng'abadde
agikulira avuddewo basobole okugizimba n'okugitwala mu maaso n'omusumba asigaddewo.

Yabategeezezza nti y'engeri yokka gye bayinza okulaga nti balumiddwa olw'omusumba
wabwe ayagenze. "Nga tujaguza obulamu bwa Yiga, buli muntu akole ky'asobola
okulaba nga obuweereza bunywezebwa, muyitimule ekitiibwa ky'ekkanisa esinge bw'ebadde ng'omusumba Yiga w'ali, kino mukisobola singa musalawo okutambulira
mu Katonda," Kayanja