Moses Lemisa
Journalist @ New vision

ASOOSE KUSIIBULA MUWALA WE

Ddobbi ow'amaanyi e Wandegeya  afudde n'aleka abafamire n'emikwano mu kiyongobero , yasoose kusiibula muwala ow'emyaka 8.

David Kizito Bogere 51 abadde amanyiddwa nga BK omutuuze w'e Nansana e Kyebando mu Nsumbi zooni mu Disitulikiti y'e Wakiso abadde  n'ekifo ekyooza engoye n'ebyuma e Wandegeya  ekiyitibwa Spick And Span  Dry Cleaners and Laundry Services yafiiridde mu ddwaliro e Nsambya mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri .

Suzan Namirimu Kizito yategeezezza nti bba obulwadde bwamutandika mu February  w'omwaka guno n'atwalibwa mu ddwaaliro e Lubaga ng'eno abasawo baamuzuulamu kkansa  w'omubyenda , sukaali ne puleesa. Oluvannyuma  baamusiibula  ku ntandikwa ya March naddamu okukakkalabya  emirimu gye .

Nnamwandu N'omu Ku Bamulekwa

Kizito Ng'asala Keeki N'abagenyi Be.

Kizito Ng'ali Ku Dry Cleaner Ye.




Yagasseeko nti nga 28 omwezi oguwedde obulwadde bwamuzeemu n'addusibwa mu ddwaaliro  lya St Francis  Nsambya  gye baamuteredde ku kyuma ekiyambako okussa ng'eno gye yafiiridde  ku eggulo ku  ssaawa 3:00 ez'ekiro.

Yagambye nti baagattibwa ne bba mu 2007 mu kkanisa ya Kingdom Hall e Makerere. Ayongeddeko nti bba abadde musajja mukakalukanyi ng'okutandika obwaddobbi yasooka kugenda kuba kyeyo mu Amerika  gye yava natandika Dry Cleaner eyeeyunirwa abantu mu Wandegeya. Eno esangibwa ku luguudo lwa Mulondo emabega wa katale ka KCCA okumpi ne wooteeri ya Ssebankyaye .

Yategeezezza nti omugenzi waakuziibwa Sisa Nakawuka. Alese abaana bana omulenzi omu n'abawala basatu ng'asembaayo obuto alina emyaka 5.

 Omugenzi ng'ali ku kitanda yatumizza abaana be ng'omukulu; Sarah Dorothy  Nansubuga ali ku ssomero (P7), ababiri baabadde wala ng'omu Daniela Nankya Nakizito 8 ye yasobodde okutwalibwa mu