Wasswa B. Ssentongo
Journalist @ New vision

EMIRANGA n'okwaziirana bibuutikidde abatuuze ku kyalo Buyaga ekisangibwa mu ggombolola y'e Busukuma mu disitulikiti y'e Wakiso, ssemaka ow'emyaka 52 bw'atunze ekibanja kye obukadde busatu (3,000,000/-) kyokka abadde tannatuuka waka ne bamuteega ne bamutta omulambo ne bagusuula ku ttale.

Atanansi Kulubya abadde amaze wiiki nnamba ng'anoonyezebwa oluvannyuma lw'abatuuze okumala ennaku eziwera nga tebamulaba.

ENGERI KULUBYA GYE YATTIDDWA

Kigambibwa nti Kulubya olwamuwadde ssente, abaamusse baamuvuddeko mabega era kirowoozebwa nti yabadde abamanyi nga bwe baatuuse mu kifo ekyekusifu ewatali bantu kwe kumukuba akabazzi ku mutwe ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ku ttale nga ne ppikippiki ye kwe yali, nnamba UDP 290D baagireka awo.

ENGERI OMULAMBO

GYE GWAZUULIDDWA

Omulaalo eyabadde alunda ente ku ttale ye yalengedde ppiki wabula ng'alowooza nti nnannyini yo alina w'ali wabula kyamwewuunyisizza okugirabawo okumala ennaku ssatu.

Wabula omulundi ogwokuna bwe yazzemu okugisangawo n'afunamu okwekengera kwe kwetuukirawo nga wano asazeewo okwetuukirawo ng'ekyennaku yasanzeewo mulambo gwa Kulubya kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze ne bayita poliisi okuva e Kasangati.

OMULAMBO GWABADDEKO EBISAGO EBYAMAANYI

Omulambo gwa Kulubya gwabaddeko ebisago ku nkoona (emabega ku mutwe) nga kiraga nti baamuva mabega ne bamutemula era n'embiriizi zaabaddeko ebisago nga kirabika okumutta baakozesa ejjambiya n'embazzi.

POLIISI EZUDDE EMBAZI EYAKOZESEDDWA OKUMUTTA

Poliisi bwe yanoonyerezza, eriko embazzi gye yaguddeko mu kifo we baakoledde ettemu lino ng'eriko omusaayi nga nayo baagikasuka ku ttale.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti baatandise okunoonyereza ku b'ani abagambibwa okubeera ku kkobaane nga wano yasabye abatuuze abalina kye bamanyi okugenda ku poliisi y'e Kasangati okuyambako mu kunoonyereza era nti omulambo gwa Kulubya gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ekkulu e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.