TOP

Ekiraamo kya Yiga kitabudde bakazi be

Added 3rd November 2020

Abantu nga balwana okuyingira mu kkanisa ya Yiga e Kawaala okumukubako eriiso evannyuma.

Abantu nga balwana okuyingira mu kkanisa ya Yiga e Kawaala okumukubako eriiso evannyuma.

Ekiraamo kya Augustine Yiga Abizzaayo ekyasomeddwa mu lukiiko lwa ffamire
kitabudde abamu ku bakazi be abataagabanye ku byabugagga.

Maggie Kayima Nabbi Omukazi baamugaanyi mu lukiiko nga bagamba bamumanyi nga
mukwano gwa Yiga so si mukazi we.

Kyokka ye yategeezezza Bukedde nti teri ayinza kumugoba kubanga mukazi wa Yiga amanyiddwa gwe yakwasa ne bbandi ya Revival era Yiga w'afiiridde nga bategeka
kugizzaawo.

Omulala eyayisiddwa obubi ye Julie Namutebi Yiga. Agamba: "nze nnamwandu omutuufu kubanga Yiga yannyanjula nga March 25, 2016 era okuva olwo Yiga abadde
tayanjulanga mukazi mulala. Abalala bonna beeyogerako
bweyogezi.

Ono baamukkirizza mu lukiiko lw'ekika kyokka ekiraamo tekyamuwadde kintu kyonna
wadde ng'alina omwana wa Yiga. "Mbadde bweru ku misomo era okugenda twasooka kukkaanya ne Yiga eyankwana nga nkyasoma. Ebisaawe baabisiba olwa corona
nga ndi bweru. Wano abantu we bava okulowooza nti twayawukana
naye tubadde kimu ne Yiga", bwe yagambye.

N'agattako nti tanoonya bintu kubanga bya baana bamulekwa. Ayagala kimu Abeekika
okumukakasa nti ye nnamwandu omutuufu.

Olukiiko omwasomeddwa ekiraamo kya Yiga lwatudde ku kkanisa ye e Kawaala ku Ssande ekiro. Ku kkanisa kwe kuli ofiisi ya Yiga n'amaka ge.

Abeetabye mu lukiiko baasoose kuyita mu kasengejja. Kigambibwa nti Nabbi omukazi teyayise mu kasengejja kubanga bamutwala ng'eyali mukwano gwa Yiga so si
mukazi we.

Yiga yali ayagalana ne Nabbi omukazi okuva mu 2007 nga Nabbi yaakamala okusoma e
Makerere. Kyokka oluvannyuma baayawukana.

Nabbi yagambye nti Yiga we yafiiridde babadde baddamu okukolagana nga Nabbi agenda kukulira bbandi ya Revival.

Yiga5 (1)

Nabbi Omukazi

Pasita Yiga Nga Julie Namutebi Amugabula Bwe Yamwanjula Mu Bakadde Be

Maama Hafswa
Mu baayisiddwa obubi mu by'okufa kwa Yiga ye mukwano gwe era bwe babadde bakolagana mu bizinensi, Richard Kimbowa eyakazibwako Kojja Kimbowa.

Ono ye yagula ennyumba ya Yiga e Lungujja mu Lubaga, Yiga bwe yali agenda e South Afrika.

Kimbowa alina emigabo mu bizinensi za Yiga okuli ABS TV. Ensonda zaategeezezza nti
tebaamukkirizza mu lukiiko wadde okumuwa omuzindaalo ku katuuti gwonna okubaako by'ayogera ku Yiga.

Julie Namutebi Yiga yankwana nsoma. Okulwala mbadde bweru ku misomo.
Okugenda twasooka kukkaanya. Saanoba era teyangoba nga bwe boogera kubanga nze mukyala omutuufu yekka gwe yalaga abantu. Abaana be bonna bange kubanga omusajja
tebamubalira bakazi na baana.

Yiga yali ayagala amale wiiki bbiri ku nsi nga tannaziikibwa kisobozese abantu bangi
okumusiibula naye COVID-19 ye yalemesezza enteekateeka.

Maggie Kayima (Nabbi Omukazi); Twali mu mukwano mungi ne Yiga. Bwe nnamuviira
nnabulwa gwe njagala asinga Yiga kye nnava mmusaba tuddemu okwagalana kyokka Yiga afudde tannakiraga mu lwatu wadde tubadde twogera.
Tewali yangobye mu lukiiko. Nnavudde ku kkanisa nga bingi
bikyagenda mu maaso ne ntwala mu ddwaaliro abamu ku baabadde
bafunye obuvune olw'abantu abangi abaabaddewo.

Ndi mu ntegeka kuzzaawo bbandi ya Revival. Sirina lutalo na muntu
yenna ku kkanisa.

Maama Hafswa Maama Hafswa eyeeyita Team Bannyarwanda era omu ku bakubi
b'essimu ku leediyo yategeezezza:
Waliwo abalowooza okweyingiza mu bintu bya Yiga ng'afudde kyokka bwe yabadde nga mulamu nga bamwesamba.

Waliwo omu ku bannamwandu eyali ayagala okuwa Yiga obutwa ne bigaana ng'entabwe yava ku kumubba n'ayagala amutte. Oyo naye kati mmuwulira yeerungiya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...