TOP

Ebikulu mu manifesito ya NRM 2021 - 2026

Added 3rd November 2020

Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana abakyala b’omu disitulikiti y’e Pader.

Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana abakyala b’omu disitulikiti y’e Pader.

EGGULO, ku Mmande, Pulezidenti Museveni yatongozeddwa akakiiko k'ebyokulonda okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu kulonda kwa 2021 ku kkaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era olwamaze n'atongoza manifesito y'ekibiina. OKUVA leero Bukedde agenda kukutuusaako ebikulu ebiri mu manifesito eno.

EKIBIINA ekya NRM kyeriisa nkuuli olw'obuwagizi obw'omuggundu mu buli kitundu kya Uganda. Kino kiva ku kuba nti ddala kibiina ky'abantu, ekifa ku bantu era ekirina ebigenderererwa ebirambulukufu ebyesigamye ku mulamwa ogukakasa nti Bannayuganda bonna balina obukuumi era bakulaakulana.

Obuwagizi ekibiina bwe kirina okuviira ddala wansi mu byalo busika abantu bonna,
abato n'abakadde okutwala mu maaso emisingi gy'ekibiina emikulu okuli demokulaasi, okwagala ensi yaabwe, obwasseruganda mu Afirika n'okukyusa embeera z'abantu.

Obukulembeze obulungi obwa NRM butuusizza Uganda ku kuba n'obukulembeze obutayuugayuuga n'obufuzi obwa demokulaase nga bino bitembeeta era ne bikuuma eddembe ly'abantu okulonda ababakiikirira mu kulonda okw'emirembe n'obwenkanya buli luvannyuma lwa myaka etaano.

Mu kulonda kwa 2016, Bannayuganda baalonda NRM nga bagyesiga okukuuma ebyabwe n'ebiruubirirwa byabwe eby'obulamu obweyagaza.

Kino kyeyolekera ku buwagizi obw'omuggundu obwaweebwa bonna abeesimbawo ku kkaadi ya NRM ku mitendera gyonna; Pulezidenti, Palamenti n'abakulembeze
b'ebitundu.

Mu kisanja kino eky'emyaka etaano (2016- 2021) Pulezidenti Museveni kye yatuuma "Kisanja- HakunaMchezo", NRM etuukirizza ebisuubizo byayo eri Bannayuganda ng'etuukiriza bye yasuubiza mu 2016 mu ngeri ey'enjawulo nga bwe kirambikiddwa mu manifesito ya 2021-2026 era eri ku mulamwa gwe gumu " Securing Your Future" ekitegeeza "Okunyweza ebiseera byo eby'omu maaso".

NRM ejja kunyweza ebiseera bya Bannayuganda bonna eby'omu maaso ng'ekola bino:
 Okutondawo emirimu n'obugagga
 Obuweereza mu byenjigiriza n'ebyobulamu
 Ng'enyweza obwenkanya awatali kyekubiira
 Ng'ekuuma abantu n'ebyabwe
 Okugatta abantu mu byenfuna n'ebyobufuzi

Ebyo ebitaano waggulu bye bikola omubumbirano gwa manifesito eno nga buli kitundu kirimu essuula ez'enjawulo eziraga mu bulambulukufu NRM by'etuuseeko era ne by'etegeka okutuukako mu myaka etaano egijja.

Okutondawo emirimu n'obugagga eri Bannayuganda bonna Ebyenfuna bya Uganda tebitintangako, tebigejjangako wadde okwanya n'okuba n'emikisa egy'enjawulo era emingi nga egyo egiriwo leero.

Okufaananako n'abantu, ebyenfuna bizaalibwa era ne bikula. Oluusi byennyika (biyongobera) n'okulwala (byeveera) naye bwe bissuuka ne bisanyuka (bitinta) n'oluusi ne bicacanca (ne bidimbuka).Ebyafaayo biraga nti ebyenfuna bya Uganda bwe byatandikibwa mu myaka gya 1900 nga gyakatandika, byasooka kukonziba nga biri mu mikono gy'Abazungu abatono n'Abayindi abaali beetooloddwa nnamungi w'abaavu lunkupe abakolerera emmere ya leero.

Nga biri mu mbeera eyo ate ne bittattanibwa abakulembeze abatalina busobozi. NRM yasanga ebyenfuna bya Uganda biri mu waadi y'abayi (ICU), nga buli kitundu ku byo kittattaniddwa era nga tekikyakola olw'okutyoboolwa gavumenti ezaali zivuddeko. Bigenze bidda engulu okuviira ddala mu 1986 nga kati bw'aba mulwadde, yawona.

Mu myaka 25 egiyise, NRM ezze ezimba ebyenfuna okufuuka ebimu ku bisinga okukula mu nsi yonna.

Okunoonyereza okwakakolebwa kussa Pulezidenti Museveni mu bakulembeze abali ku ntikko mu nsi yonna abakoleredde enkulaakulana y'ebyenfuna by'amawanga gaabwe, bo nga abantu.

Okuva mu masekkati ga 1986 NRM nga yaakajja mu buyinza okutuuka mu 2014 (kye kiseera okunoonyereza kuno we kwakolerwa), ebyenfuna bya Uganda okusinziira ku bikolebwa mu ggwanga byali bikulira ku misinde gya bitundu 6.7 ku buli 100
ate ng'ennyingiza ya buli muntu ekulira ku misinde gya bitundu 3.5 ku buli 100

Abanoonyereza bano Pulezidenti Museveni baamusukkulumya ne ku bakulembeze aboogerwako nga Lee Kuan Yew owa Singapore ne Park Chung Hee owa South Korea.

Nga ssennyiga omukambwe (COVID-19) tannazinda Uganda mu March wa 2020, ebyenfuna by'eggwanga bibadde bikula mu ngeri esanyusa.

Ebikolebwa mu ggwanga bibadde bikulira ku misinde gya bitundu 6.5 ku buli 100 mu mwaka gw'ebyensimbi 2018- 2019 nga byeyongeddeko obutundutundu 0.3 okusinga ku by'omwaka ogwayita ogwa 2017/18. (UBOS, July 2020).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?