Josephat Sseguya
Journalist @ New vision

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo alina w'abadde atuuka wakati mu kusaba ku kkanisa ye eya Christian Revival e Kawaala n'asaba abantu okuwa obujulizi ku byamagero Mukama by'abakoledde.

Akanyomero kano abamu ke bayita ‘pulogulaamu' kayitibwa "Kiki ky'olifa
teweerabidde."

Abantu bangi naddala abakazi babadde basinziira wano ne bawa obujulizi nti okuva Pasita Yiga lwe yabasabira, ebintu bikyuse mu bulamu bwabwe.

Kyokka abatawagira Yiga bino babadde babiyita byamagero Yiga by'apangirira n'awuddiisa abagoberezi be n'abakozesa eby'ekifere.

Wabula waliwo abakyamutenda okubeera omusajja ow'ebyamagero.
Abasinga okuba ne bye batalyerabira ku Yiga bakazi era nga be basinga obungi mu kkanisa ye.

Buli lwa Ssande ne mu kusaba kwonna kw'abadde ategeka, babaddenga basimba layini buli omu n'aweebwa akazindaalo n'annyonnyola ky'alifa teyeerabidde.

Ennaku ettaano ze yamaze nga tannaziikibwa okuva lwe yafiira mu ddwaaliro e Nsambya, ku kkanisa bangi babadde bakaaba nga n'abamu boogera bye batajja
kumwerabirako.

Kiki ky'olifa teweerabidde ebadde yafuuka pulogulaamu ne ku ttivvi ye era ng'ekwata bangi omubabiro.

Tukuleetedde abamu ku baawa obujulizi ku ttivvi ye mu pulogulaamu eno. Kuno kwe tukugattidde be twasanze mu kumukungubagira nga boogera bye  batayinza kumwerabirako.

Augustine Yiga 4Ono (waggulu) Yiga yasooka kumubuuza nti, "kiki gwe ate ekikubonyaabonya, tolina musajja?"
Omukazi n'amuddamu nti, "omusajja nnina ate ono simulabangako kubanga laavu ampa
nnyingi. Nze mulowoozaako nnyo sikirabanga oba nkole ntya? Nsabira Musumba omutima gukkakkane naye kiyitiridde. Musumba essaala yo oba ekola etya? Obulamu bulungi nnyo..."

Augustine Yiga 3OMUKYALA ono (ku kkono) yatandika nti, "Musumba..."
Yiga n'addamu nti, "Wangi?" omukyala n'agenda mu maaso nti, "Nsooka okukwebaza olw'akatambaala ke wampa lwe najja wano nga ndoota ente ezingoba. Nnakassa mu mazzi ne nganywa era kati sikyabiroota. Naye omanyi bwe bampita ku kyalo ewaffe?" Yiga n'amuddamu nti, "bakuyita batya?"
Yamuddamu nti, "bampita mukyala Musumba Yiga ate nange kati kinnyumira wadde nasooka kutya."

Augustine Yiga 2

TOKYADDAMU KUKAABA

Omukyala ono Pasita Yiga yamubuuza nti, "Olina olubuto?" ko ye nti "nedda." N'amubuuza kiki ky'olifa teweerabidde?
N'amuddamu nti, "tewali kirala okuggyako okubonaabona kwe ndiko
mu nsi." Yiga yamusabira n'amugamba nti, "Katonda nga bw'ali omulamu,
amaziga g'okaabye ge gasembayo mu bulamu bwo."

Augustine Yiga 1Scovia abeera ku Munaku e Kasubi; "Yiga yansumulula ebyali binsibye naddala obulwadde bwa asima." Agamba nti Yiga yali ku ttivvi n'asaba abantu abaali bamugoberera bakwate awabaluma abasabire bawone. Scovia yategeezezza nti
yakwata awaali wamuluma ne wawona era ekyo talikyerabira.

Maggie KayimaMaggie Kayima (Nabbi Omukazi): Ono ye musajja gwe nali njagadde ne
mukyawa n'annemerera ne musaba anneetondere, tuddingane.
Agenze okufa nga musonyiye byonna bye yannyiiza omuli n'eby'ebiboozi
bye yansibako nga twawukanye. Kye sirimwerabirako kwe kuba nga ye musajja
yekka eyantegeera ennyo ebyange nti n'okutuusa kati siddangamu kufuna antegeera
nga ye.

Augustine Yiga

Ronnie Guns, mutunzi wa misono gya basereebu. Ye yatunga ekyambalo kya Jose
Chameleone ekyefaananyiriza abagenda ku mwezi n'atungira ne Maggie Kayima
lwe yakoleramu konsati y'oluyimba lwa Nabbi Omukazi. "Yiga yampa obukadde
5 nga tewali muyimbi yali azimpaddeko. Ekyambalo kyabalema n'okutereka, Yiga
n'ansasula n'ez'okukitereka buli mwezi."