New Vision Journalist
Journalist @ New vision

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira ayongedde okulabula Abakristaayo okuva ku biragiro ebyassibwawo okutangira okusaasaana kwa Corona
mu masinzizo.

Yagambye nti yakitegeddeko nti amasinzizo agamu gayingiza Abakristaayo abasukka
mu 70 n'abazadde abamu bagenda n'abaana ku masinzizo, ekintu ekimenya amateeka agassibwawo.

Mu bubaka bwe eri amasinzizo gonna mu Bulabirizi obwasomeddwa ku Ssande, Luwalira yasabye abaweereza okwegendereza mu kiseera kino aky'ebyobufuzi nate ekkanisa
ereme kufuuka kadaala ka byabufuzi.

Yatangaazizza ne ku nkiiko z'Ekkanisa mu bitongole byayo bwe zitalina kutuula mu maka ga bantu wabula ku kkanisa.

Rev.Moses Kayimba omumyuka wa Ssaabadinkoni w'e Mengo era atwala Obusumba bw'e Namasuba bwe yabadde asoma obubaka buno mu kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya-
Namasuba ku Ssande, yasabye buli Mukristaayo abeere musaale mu kulwanyisa Corona.