
Donald Trump
HARRISBAG, Pennsylvania
PULEZIDENTI Donald Trump atabudde Abamerika bw'ategeezezza nti amaze okulagira balooya be okugenda mu kkooti okuwakanya amateeka agaayisiddwa mu ssaza ly'e Pennsylvania ku ngeri gye banaabalamu obululu.
Kyaddiridde Gavana w'essaza ly'e Pennsylvania Tom Wolf okutegeeza nti essaza lye terigenda kwanguyirira kubala bululu bwonna ku lunaku lw'okulonda wabula basobola n'okutwala ennaku endala ssatu nga bakyabala olwo bafune ekituufu.
Trump yagambye nti buno bubbi bwennyini akalulu balina okukabalirawo era n'omuwanguzi alangirirwe awatali kwekwasa.
Lino lye limu ku masaza amatono mu Amerika (swing state) agasalawo ani anaawangula obwapulezidenti. Mu kulonda kwa 2016, essaza lino lyawangulwa Trump naye ku kaguwa.
Trump yabadde akyayomba ne gavana ono okulwisaawo okubala obululu, ate ssaabawolereza w'essaza lino Josh Shapiro nga naye wa kibiina kya Democrats n'ategeeza nti Trump akaayanira bwereere kuba bbo bye baakabala mu ssaza lino biraga nti Joe Biden yawangudde ddaaa..!
Obubaka buno olwabutadde ku mukutu gwe ogwa twitter Trump n'addamu okutabuka ng'abuuza obululu baabubaze ddi okuzuula nti Biden yawangudde olwo n'alangirira nti kati ensonga azikwasizza balooya be bajja kuttunka n'abakulembeze mu ssaza lino embuga zibalamule.
Kibadde tekirabwangako Pulezidenti wa Amerika ng'akyali mu ntebe yadde avuddeko kulumba ssaza lyonna ku ngeri gye baddukanyamu okulonda.
Enneeyisa ya Trump yayongedde okucankalanya abalonzi n'okubatabula oluvannyuma lw'okumaliriza okulonda n'atandika okuweereza obubaka ku mukutu gwe ogwa twitter ng'agamba nti obubbi obweyolekedde mu nkola y'okulonda eya ssaayasansi (mail voting) tabulabangako era ebivudde mu kulonda bibuusibwabuusibwa.
Bwe yabadde mu ssaza ly'e Wisconsin, Trump yayongedde okutabuka olw'ensalawo y'essaza lino n'alabula nti kati ekigenda okuddako kwekalakaasa ng'abawagizi be okwetooloola Amerika bawakanya obubbi obuzze bweyoleka.
Trump okwongera okutabulatabula ebintu ng'Abamerika abasoba mu bukadde 100 bamaze okusuula akalulu kaabwe nga n'amasaza agamu gamaze okulangirira awangudde.
Yadde abasoba mu bukadde 100 be baalonze, okuwangula Obwapulezidenti mu Amerika eyeesimbyewo yeetaaga okuweza ababaka abalonda (electors) 270. Bano bagabanyizibwa okusinziira ku bungi bw'abantu abali mu masaza ataano agakola Amerika. Okugeza essaza lya California lye lisinza abantu abangi ssaako n'obunene era lyaweebwa ba ‘Electors' 55. Kwe kugamba nti awangudde essaza lino aba afunye ba Electors 55.
We bukeeredde leero ng'amasaza agamanyiddwa okuwangulwa aba Democrats, Biden agawangudde ate aga Republicans nga nago Trump agayodde. Enkalu zibadde zikyali ku masaza matono okuli Texas, Wisconsin, Florida, Ohio, South Calorina ne Nevada.