TOP
  • Home
  • News
  • Balam awoyaawoyezza Full Figure obutava mu NRM

Balam awoyaawoyezza Full Figure obutava mu NRM

Added 4th November 2020

Full Figure

Full Figure

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni, Jennifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure atiisizza okwabulira ekibiina kya NRM ssinga tafuna kunnyonnyolwa kumala lwaki yagobeddwa ku mukolo gwa Pulezidenti ng'atongoza manifesito ye oluvannyuma lw'okuwandiikibwa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'Obwapulezidenti.

Zaagenze okuwera essaawa 6:00 ez'emisana nga Full Figure atuuse e Munyonyo ku Speke Resort awaabadde omukolo, anoonya wa kutuula kyokka ono yalabidde awo ng'omukungu omu amulagira okwamuka ekifo kino.

Full Figure yayongedde okusoberwa abajaasi bwe baamulumbye ne wabweru we yabadde atudde ne bamulagira nawo aveewo adde eka.

Yasoose kwogera nabo mpolampola n'abasaba bamuleke agira atuddeko awo nga bw'alinda ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba kuba ye yamuwadde kkaadi kyokka tebaamuwulirizza.

Agamba nti yabategeezezza nti ali lubuto nga tasobola kuyimirira y'ensonga lwaki yabadde atudde ku kifugi kyokka yalabye bamulemeddeko naye kwe kuva mu mbeera n'abatabukira nti: "Entwala gye mututwalamu nninga mubbi, oyinza okulowooza nti tuli balabe bammwe. Lumumba (obwedda gw'ayita maama) ye yampadde kkaadi era bankebedde ne Corona naye kati simanyi lwaki nsindiikirizibwa okutuuka ku mbeera eno."

Oluvannyuma Full Figure yagambye nti wandiba nga waliwo abantu abaagala okumulwanyisa kuba balaba akoze bulungi omulimu gw'okukunga abavubuka naddala mu Kampala era akyusizza bangi okwagala Pulezidenti Museveni.

Ye Balaam eyasoose okumusaasira yamugambye nti agume kubanga abateesi bangi. "Full Figure mukama wange guma. Buli lw'oyambuka kibaluma naye eyo nsonga ntono nnyo abakulu bajja kugikolako," Balaam bwe yagasseeko.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...