
OMUYIMBI Bebe Cool atadde akaka nti NRM ejjudde enkwe n'okwekuba enkokola. Agamba nti abantu bangi abakola ennyo okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu, abanene babatuulako ne babalemesa okumulaba.
"Ku mukolo gw'okutongoza manifesito ya Pulezidenti Museveni nabaddeyo ne nnyimba naye saagenzeeyo kuyimba kwokka kubanga nze ne bannange mu NRM tulinayo emirimu emirala gye tukola.
Nagenze kuloopera ‘Muzeeyi' enkwe n'entalo eziri munda mu kibiina nga waliwo abawagizi be abatafiiriddwaako ng'ate bakulu nnyo era nnamusabye asseewo okutabagana okw'amangu," Bebe Cool bwe yategeezezza.
"Nze nga kkaada wa NRM, abantu be mmanyi si be banene bokka be walabye ku katuuti naye njagala Museveni amanye abantu baffe aba wansi nti nabo bakulu okuva ku LC 1 okutuuka ku bassentebe ba disitulikiti. Bano banoonya akalulu ka NRM nju ku nju era emyaka gyonna babeerawo ku kyalo nga balwanirira akalulu ka Muzeeyi," bwe yagasseeko.
Wabula yagambye nti mu NRM mwokka si mwe muli ‘enjawukana' naye ne mu bibiina ebirala gye kiri. Kwe kugattako nti: "Emyaka ena n'ekitundu bukya tuyimba ‘Tubonga naawe' abantu beebuuza bye nkola ne Museveni! Abantu bantuukako mangu ne bambuulira ebibaluma ne mbimutwalira n'abikola mu bwangu. Naye ddiiru zisusse mu NRM n'abantu abakoleredde ekibiina okumala ebbanga tebakyalabwawo."
Bebe Cool yawadde Full Figure n'abalala abaakeesogga NRM amagezi nti NRM mulimu enkwe n'enkokola era bw'otuuka ku mulyango ne bakugaana okuyingira towaliriza.