
Abatuuze nga beetegereza omulambo gwa Kyasiimire nga poliisi eguteeka ku kabangali.
OMUWALA eyafulumye mu nnyumba ku ssaawa 4:00 ez'ekiro okugenda mu 'tonninyira' okugula emmere y'ekyeggulo, abatuuze kibabuuseeko bwe bakedde ku makya ng'omulambo gwe gugangalamye ku lusuku!
Sylvia Kyasimire 22, ng'abadde asula ne bannyina e Namataba gy'abadde asiikira chips n'enkoko, yasangiddwa nga atugiddwa n'asuulibwa mu lusuku lw'amatooke okuliraana essomero lya City Kids Junior school e Namataba.
Omulambo gwa Kyalisiima gwasangiddwa nga bagwebasizza kyabugazi, mu kawale akaddugavu n'akabulawuzi , nga mu bulago mulimu enkwagulo, nga buzimbye ng'alinga gwe baatuze, ate ku bbali waliwo akaveera aka kiragala omubadde emmere y'amatooke, bbiringanya wamu n'ebinyeebwa ebisekule.
Yunusi Ssegawa gwabadde akola naye, yategeezezza nti bannyuse ku ssaawa ssatu n'ekitundu, bwe baatuse awaka ng'enjala ebaluma, ye n'abagamba nti kagende agule emmere, ne bamugaana ne bamugamba agule amata banywe ago era yafulumye nga bamanyi nti ky'agenze okukola.
"Twakanyizza kulinda ng'eyagenze okugula ebyokulya tadda, era nze nasuze omutima teguliimu ne ndowooza nti oba abaserikale be bamukutte bino ebya kafiyu! Ku makya tukedde ku poliisi e Kirinnya ne muganda waffe eyamuleeta Vasita Katusabe tulabe oba gy'ali.
Bwe twatuuseeyo, ne batugamba nti baabadde baakabakubira essimu nti e Namataba waliyo omuwala gwe basse era ne batusaba tusooke tutuukeyo tulabe oba ye waffe era bwe twatuuseeyo nga yeye", Ssegawa bwe yategeezezza.
Poliisi okuva e Kirinnya ng'ekulembeddwa agitwala Billy Ttabu bazze ne baggyawo omulambo okuutwala mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa. Muganda wa Katushabe yategeezezza nti omulambo gwa Kyalisiima gwakuziikibwa e Mbarara.
ABAKAZI ABAZZE BATTIBWA MU KIRA
1.Caroline Nanjego abazigu baamusobyako ne bamutta omulambo ne gusuulibwa mu kasooli okuliraana woteeri ya Rest Gardens e Bweyogerere.
2. Norah Gabeya 22, ow'e Kyaliwajjala eyali olubuto olw'emyezi omusanvu yatugibwa muganzi we Reagan Ssenkozi omwezi oguwedde omulambo n'agusibira mu dduuka.
3. Evelyn Nakityo eyali abeera mu Kireka D yattibwa mu 2018 omulambo gwe ne bagukumako n'omuliro.