TOP
  • Home
  • News
  • Obumyu bulimu obugagga abantu bwe batannazuula

Obumyu bulimu obugagga abantu bwe batannazuula

Added 5th November 2020

Mukasa n'obumyu bw'alunda.

Mukasa n'obumyu bw'alunda.

"BULI gw'ogamba okulunda obumyu asooka kukubuuza gye wali olabye omudaala kwe batunda ennyama y'akamyu. Obumyu bulimu zzaabu abalunzi ba wano gwe batannavumbula'' Muawiya Mukasa omulunzi w'obumyu bw'agamba. Mukasa agamba nti ennyama y'akamyu bangi abagyagala okugirya.

Mukasa 30, ye nnannyini Kapeeka Agro and Livestock Farm esangibwa ku kyalo Kabala mu ggombolola y'e Kito mu disitulikiti y'e Nakaseke.

Ffaamu ya Mukasa etudde ku yiika 170 wabula mu kiseera kino yiika 70 kw'akolera pulojekiti ez'enjawulo. E y'obumyu yagituuma " Kalf Rabbitry " ng'agamba kuliko obumyu 35,000.

Mukasa yaleeta obumyu obw'olulyo obulume n'obukazi okuva e Kenya 400 era bwe bakozesa nga ensigo. Buli kamu yakagula ku 120,000/= . Agamba nti ebika bino byombi obumyu obuto bwe buzadde mw'agenda okukola ekika ekikye ky'atuumye "Nakaseke Breed".

ENTANDIKWA
Nali njagala okulima ovakkedo wa Hass oluvannyuma lw'okusisinkana amulima nga tugenze e Mecca. Naye bwe nakyalirako omulunzi w'ebyennyanja e Matugga , mu luggya ng'alinamu akayumba k'obumyu akansanyusa.

Yandagirira omulunzi w'obumyu omulala e Mukono eyannyongera amagezi ku nnunda y'obumyu ey'omulembe . Nakomawo ku ffaamu yange ne nsalawo okutandika pulojekiti y'obumyu. Natema emiti okuva ku ffaamu yange endala gye nakozesa okuzimba ekiyumba nga nazimba ebiyumba bya bumyu 1200.

Empiira Obumyu Mwe Bufunira Amazzi.

Emmere Y'obuweke Gy'akolera Obumyu Bwe.

KALANTIINI
Nali nnaakaleeta omukugu mu nnunda y'obumyu okuva e Kenya nga waakumala ennaku bbiri, gavumenti n'esiba eby'entambula. Omukugu ono yampa amagezi ku ndabirira ennungi ey'obumyu ne nganyulwamu era ku magezi ge kwe nsinzidde okugaziya ffaamu.

Mukasa agamba nti buli muntu asobola okulunda obumyu kubanga bwangu okulabirira ate buzaala mu bungi omulundi gumu obumyu 6-8 mu nnaku 28 -30 ekirala akatale weekali.

EKIBALO KY'OBUMYU
Tuluubirira okufuna akamyu akazitowa kkiro 4-5 . Buli Kkiro y'akamyu bagitunda 28,000/= - 35,000/=. Bw'oba okalabiridde bulungi kazaala ku myezi 5-6 . Buli kamyu okatunda wakati wa 100,000/- 120,000/-.

Ku kamyu tewali kisuulibwa . Ennyama bagirya , eddiba likolebwamu ensawo , engatto n'ebirala. Emitwe, obugulu, ebyenda bikolebwamu emmere y'embwa .

AKATALE
Mukasa agamba nti akatale kanene ddala. Alina wooteeri ez'enjawulo ezimusaba ennyama y'obumyu mu bungi ddala naye asoomoozebwa kubanga alina okukola endagaano gy'olina okutuukiriza.

PULOJEKITI ENDALA
Ng'oggyeeko okulunda obumyu , Mukasa alina embuzi 200, endiga 50 maleeto 15 n'enkoko ez'ennyama 500. Ennaanansi yazitabiikiriza n'ebitooke, emicungwa yiika 25. Alina emiyembe obutunda, bbogoya, gonja yabitabiikiriza n'entangawuuzi ku yiika 40.

TEKINOLOGIYA
"Omusulo gw'obumyu naguteeramu engogo ezigutambuza okuviira ddala mu kiyumba ne gukulukuta okutuuka mu ttanka ya liita 10,000 mwe gukungaanira. Omusulo tugufukirira ku birime nga gutuyambako okugimusa ettaka . Omulala tugutunda ekidomola kya 50,000/= Yakola Biogas okuva mu bubi bw'obumyu gw'akozesa okufumba ku ffaamu . Amazzi g'okunywa gatambulira mu mpiira ng'obumyu buganywera ku nnywanto kiyambako obutagoonoona n'obutatobya kiyumba kuleeta ndwadde. Ku ffaamu yazimbako ekyuma ky'akozesa okukola emmere y'obumyu ey'empeke eyitibwa "pellets".

Afulumya kkiro 500 buli ssaawa . Emmere y'empeke endala agiguza abalunzi b'obumyu mu ggwanga. Alina dulaaya zakozesa okukaza ebintu eby'enjawulo ku ffaamu nga amaliba g'obumyu , ennaanansi mu ngeri y'okubyongerako omutindo. Yasima ekidiba ky'amazzi omunywera ente .

ENZIMBA Y'ENNYUMBA Y'OBUMYU
Akayumba k'akamyu azimba ka ffuuti 2.5 ku ffuuti 2. Omusulo gw'obumyu gukola ekigimusa ekirungi emmere y'empeke ekoleddwa "Pellets" esigalidde mu kiyumba ky'obumyu Mukasa agigabirira enkoko. Kalimbwe n'obusa bw'embuzi nabyo abikozesa okugimusa ettaka.

ENDIISA
Obumyu obuto abugabirira ggulaamu 30 olunaku. Ate akakulu okutandikira ku mwezi gumu kalya wakati wa ggulaamu 100 - 200 okusinziira ku mbeera yaako, oba kayonsa. Obumyu osobola okusanga nga bwonna bufudde ssinga bufuna ekiziyiro ne butafuna mpewo emala. Okubugabirira emmere etali ku mutindo naddala nga buvudde ku mabeere ku wiiki 4-6 nakyo kibutta.

ABAKOZI
Mukasa agamba nti alina abakozi 30 ab'enkalakkalira. Ku bano kuliko abasawo b'ebisolo basatu. Ng'oggyeeko okubasasula omusaala ogwa 150,000-500,000/- omwezi, abasuza, abaliisa , abajjanjaba nga balwadde.
Mukasa agamba nti mukyala we Faridah Mahfud y'akola ku bikwatagana ne ssente ku ffaamu . Ate nnyina Mwasiti Nakatte alondoola emirimu egikoleddwa abakozi ku ffaamu .

OKUYAMBA EKITUNDU
Abantu bonna nabawa omukisa bafune amagezi ku ngeri entuufu obumyu gye bulundibwamu n'okubufunamu ssente.
Mukasa agamba nti buli mwezi ategeka emisomo egikwata ku nnunda y'obumyu.

OKUSOOMOOZEBWA
Ebbula ly'amazzi Yadde alina omugga oguyita mu ffaamu naye gwesudde wala ng'okusika amazzi netaaga obukadde 24 okugatusa ku ffaamu.

ENTEEKATEEKA EZ'IJJA
Mukasa alina enteekateeka okufuula ffaamu ye ekyobulambuzi. Ayagala kukifuula ekifo we bategekera ennyama y'akamyu eriibwa era ategeka okuzimba ekidiba ky'ebyennyanja.

Buli kiyingira n'okufuluma ku ffaamu kirina okugenda mu kitabo okusobola okumanya ennyingiza n'enfulumya. Twewandiisa mu kitongole kya National Bureau of Standards wabula tukyali bato era tetunnaba kutandika kukola magoba gasasula misolo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...