TOP
  • Home
  • News
  • Badokita abakugu 3 bafudde mu wiiki eno

Badokita abakugu 3 bafudde mu wiiki eno

Added 6th November 2020

Badokita abaafudde.

Badokita abaafudde.

EKIBIINA ekigatta abasawo mu ggwanga, ekya Uganda Medical Association (UMA) kiri mu kiyongobero oluvannyuma lw'okufiirwa abasawo abakugu basatu mu wiiki emu.  Mu bano mwe muli n'abadde akulira eddwaaliro ly'e Rakai eyafudde eggulo ku makya obulwadde bwa Covid 19.

Dr. Yasin Kiyemba amaze wiiki bbiri mu ddwaaliro e Mulago gye yatwalibwa oluvannyuma lw'okizuula nti alina obulwadde bwa Covid 19.

Dr.kiyimba Afudde Corona.

Okusinziira ku  Dr. Richard pulezidenti wa UMA President n'abalala badokita babiri bafudde wiiki eno okuli; Samwiri Kamya, amanyiddwa nga Mr. GSW Kamya, ono abadde mukugu era eyeebuuzibwaako mu byokulongoosa  era eyakulirako akakiiko avunaanyizibwa ku byobulamu aka Health Service Commission.

Kamya yafudde ku Lwokusatu November 4, era nga waakuzikibwa ku wiikendi.

Omulala ye; Dr. Charles Nabangi abadde akulira ebyobulamu mu disitulikiti y'e Mayuge. Ono yasoose kuzirika oluvannyuma n'atwalibwa mu ddwaaliro lya Nile International Hospital e Jinja.

Dr. Nabangi yagasseeko nti ono yafudde pulesa okusinziira ku mwogezi wa disitulikiti eno , Lukiah Kakai, era yaziikiddwa eggulo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...