
Manyindo
OLUKIIKO olufuzi olw'ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebintu mu ggwanga ekya UNBS lulonze David Livingstone Ebiru agira adda mu bigere bya Dr. Ben Manyindo abadde akikulira eyawummudde.
Ebiru abadde mumyuka w'akulira UNBS owookubiri nga y'avunaanyizibwa ku by'emirimu n'ebyensimbi okuva mu 2012. Mukugu mu by'okubala ebitabo wabula ebbanga ly'amaze mu kitongole kino emirimu gyakyo egisinga agitegeera bulungi.
Dr. Manyindo yawummudde emirimu gy'ekitongole kino mu butongole wiiki ewedde oluvannyuma lw'okukikulira okuva mu 2012. Enkyukakyuka zino zijjidde mu kiseera ng'ekitongole kino kiyita mu kusoomoozebwa olw'ebintu ebitali ku mutindo okweyongera ku katale mu byobusuubuzi.