TOP
  • Home
  • News
  • Bp. Mutebi yeegasse ku lotale n'asiima abaamudduukirira

Bp. Mutebi yeegasse ku lotale n'asiima abaamudduukirira

Added 6th November 2020

Kawalya ng'aliko byannyonnyola Bakatumba. Ku kkono ye Kavulu.

Kawalya ng'aliko byannyonnyola Bakatumba. Ku kkono ye Kavulu.

OMULABIRIZI Hannington Mutebi, amyuka omulabirizi w'obulabirizi bwe Kampala akuutidde Bannayuganda okudduukiriranga abalwadde abatalina mwasirizi babayambye basobole okujjanjabwa naddala abo abalina obulwadde bwa kookolo nga bwe baakola bwe yali nga mulwadde.

Yeebazizza Bannayuganda bonna n'aba Rotary Club abaawaayo ssente ezaawera obuwumbi bubiri n'ajjanjabwa mu kaseera akaali akazibu ddala.

Yabyogeredde mu maka ge agasangibwa e Dundu ku lugundo lwe Kayunga mu disitulikiti y'e Mukono bwe yabadde ayogera eri abakulembeze ba Mengo Rotary Club abaabadde bamukyalidde okumusiima olw'emirimu gy'akoledde eggwanga n'okumusaba okwegatta mu Rotary Club era nga bamwambaza ekitiibwa kya PHF .

Ku kabaga kano okwetabiddwa abakungu ab'enjawulo abaliiko abakulembeze mu Rotary Club nga Ow'ekitiibwa Nelson Kawalya eyali omwogezi w'Olukiiko lwa Buganda, Ernest Kavulu akulira Rotary Club e Mengo, Rotarian Peter Jjemba Kaggwa, Rotarian Daniel Mukasa Ddamulira, Rotarian Eddie Mutebi, Rotarian Margaret Kasozi, Rotarian James Kalimbala n'abalala.

Omulabirizi Mutebi yeebazizza bannakibiina olw'obuyambi bwe bawaayo eri abantu ab'enjawulo omuli okuwaayo ssente z'okujjanjaba abalwadde ba poliyo mu nsi yonna, okuyamba abantu n'obuyambi bwe baamuwa nga mulwadde n'agamba nti omulimu gwe bakola gufanana Ekkanisa gw'ekola era n'akuutira abantu abalala okubalabirako.

Omulabirizi yategeezezza nti atandise okuzimbira abatuuze b'omu kitundu Ekkanisa ku ttaka lye nga kino akikoze okwebaza Katonda olw'obujjanjabi bwe yafuna ng'ekkanisa yagirambuza abagenyi be.

Nelson Kawalya ye yakoze omukolo gw'okuyingiza Omulabirizi mu kibiina mu butongole n'okumukwasa akabonero ka Rotary Club akalaga ekitiibwa ky'omutandisi PHF (Paul Harris Fellow) nga kaweebwa abo bokka abalina ebirungi bye bakolera eggwanga.

Yinginiya James Kalibbala eyasasudde ssente eziyingiza Omulabirizi mu kibiina, yannyonnyodde ensonga ez'enjawulo kwe yasinzidde okunokolayo erinnya ly'omulabirizi Hannington Mutebi okumuyingiza mu Rotary Club n'agamba nti amulabidde ebbanga ng'akolera eggwanga lyaffe ebirungi okuva mu myaka gy'e 70 okutuusa kati.

Yagambye nti omuntu yenna okuyingizibwa mu Rotary Club basooka kutunuulira bikolwa bye ebyekisa n'obusobozi bw'aba alina okuyamba abantu abalala.

Milly Mutebi mukyala w'omulabirizi yeebazizza nnyo aba Rotary Club olw'okusiima bba n'okubakyalira era naye ne yeebaza ne Bannayuganda bonna olw'okubadduukirira mu bya ssente okujjanjaba bba.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...