TOP
  • Home
  • News
  • Eyatandika essomero lya Makonzi aziikiddwa

Eyatandika essomero lya Makonzi aziikiddwa

Added 6th November 2020

Masembe

Masembe

OMUTANDISI w'essomero lya ya Makonzi Boarding School e Makonzi mu disitulikiti kati ey'e Kassanda, John Masembe yaziikiddwa eggulo mu maka ge e Malonzi.

Essomero lya Makonzi lyayitimuka nnyo mu myaka gya 80 era nga lye limu ku gaali gasinga ettutumu n'omutindo gw'ebyenjigiriza mu ggwanga.

Ng'oggyeeko essomero, Masembe (82) yaliko omulimi w'ebikajjo omututumufu ng'alina ebyuma ebibikamula oluvannyuma n'akolamu ssukaali ggulu oba kaloddo. Kuno yagattako n'okulima kasooli mu bungi.

Bino byafuula Masembe omugagga ow'amaanyi mu disitulikiti ya tennakutulwamu era nga y'omu ku basinga okuba n'ettaka eddene.

Flavia Basuuta, muwala w'omugenzi yamwogeddeko ng'abadde omuzadde, omukwanaganya w'abantu ate afuddeyo okukolerara ekitundu mu bintu eby'enjawulo.
Masembe yazaalibwa mu 1938 era yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago ku Lwokubiri.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...