
Omuserikale nga yeekenneenya ebiwandiiko byabwe.
ABAVUBUKA 130 basunsuddwa okuyingira mu Poliisi ku 400 abaali baateekayo okusaba
kwabwe.
Omubaka wa Gavumenti mu disitulikiti y'e Kannungu, Haji Shafikh Ssengoba Ssekandi asabye abasunsuddwa okubeera n'empisa ssaako okwongera ku bitabo byabwe.
Yabasabye okukozesa emmundu zaabwe obulungi beewale emize n'emivuyo mu mulimu gwabwe.
Yagambye nti abaserikale abapya abaawandiikibwa baakwongera kutebenkeza ggwanga nga bakendeeza obumenyi bw'amateeka n'okunyweza ebyokwerinda.
Abaasunsuddwa baagambye nti basanyufu okuyingira poliisi era beetegefu okukola emirimu eginaaba gibaweereddwa.