TOP
  • Home
  • News
  • Essomero alifudde mizigo gy'abapangisa afune ekiwera !

Essomero alifudde mizigo gy'abapangisa afune ekiwera !

Added 11th November 2020

Essomero lya Najjera Progressive erigenda okufuulibwa emizigo.

Essomero lya Najjera Progressive erigenda okufuulibwa emizigo.

SSENNYIGA omukambwe akyusizza bingi era kati bangi bakuba ttooci mu bulamu bwabwe ne bye bakola okuzuula ebibagasa ne bye balina okukyusa okutambula n'embeera eyakyuka.

Buli olukya bannannyini masomero beetamwa bizinensi y'okugaddukanya olw'entabukatabuka ssennyiga omukambwe, COVID-19 z'aleese.

Mu gamu ku  amasomero agatandise  okweyubula ne gakyusa bizinensi mwe muli Najjera Progressive School.

Timothy Nsamba nnannyini ssomero lino yategeezezza nga bwe yawandiikira edda abazadde ebbaluwa ng'abategeeza okukyusa abayizi babatwale mu masomero amalala.

"Omuwendo gw'abayizi guzze gukendeera era oluvannyuma lw'okwekenneenya ebiseera by'essomero eby'omu maaso, nga kirabika liddirira twasalawo okuliggala
nga tetukyasobola kuliddukanya.

Kino kivudde ku bazadde okulemererwa okusasula ebisale by'essomero. Twagezaako
okubateeka ku muwendo omusaamusaamu n'abazadde okusasula mu bitundu kyokka kirabika nakyo kiremye," bwe yategeezezza.

Leero bw'otuuka ku ssomero lino ebizimbe ebisinga byereere.
Nsamba bw'abuuziddwa ky'ategeka okuzza mu bizimbe bino ebibaddemu essomero yagambye nti alina bizinensi endala gy'ategeka okukoleramu.

Patrick Muinda

"Mu kiseera kino tulina abayizi abo bokka aba P7, abaamala okwewandiisa
okubuuzibwa ebibuuzo eby'akamalirizo, Nsamba bwe yategeezezza.

EBIBIINA WAAKUBIFUULA MIZIGO GY'ABAPANGISA
Timothy Nsamba nnannyini ssomero lya Najjera Progressive School yategeezezza nti waliwo enteekateeka ez'okukulaakulanya ekifo omubadde essomero n'ategeeza nti ensimbi ezigenda okutandika bizinensi endala bakyazinoonya.

"Mu kiseera kino tugenda kukyusa bisenge by'essomero tubifuule emizigo nga bwetulinda abaana abali mu P7 okutuula ebigezo byabwe eby'akamalirizo, olwo
ebibiina tubijuzzemu abapangisa nga bwe tulinda okubaako pulojekiti
endala gye tukolera mu kifo kino," Nsamba bwe yategeezezza.

EKIBALO
Ebimu ku bibiina ebibadde bisomesebwamu abayizi bibadde bikalu nga guno tugulaba nga omukisa okuyiiyiizaamu ekintu ekirala ekiyinza okuvaamu ensimbi.

Essomero liweza ebibiina 12 nga mu kiseera kino buli kisenge kivaamu 100,000/- kibeera kitegeeza ebisenge 12 bivaamu 1,200,000/- omwezi gumu. Ku ky'okuddaabiriza ebibiina bino, mu kiseera kino biri mu mbeera nnungi era tebyetaaga kuddaabirizabwa.

EBIRUUBIRIRWA
Nsamba yagambye nti waliwo enteekateeka ez'okukulaakulanya ekifo omubadde essomero n'ategeeza nti ensimbi ezitandika bizinensi endala bakyazinoonya. Omwaka ogujja ng'abayizi bonna bamaze okuva mu ssomero bajja kutuula banoonye bizinensi endala ejja okubaganyula.

EKIBIINA EKIGATTA AMASOMERO KYOGEDDE

Patrick Kaboyo ssaabawandisi w'ekibiina ekitwala amasomero g'obwannannyini ekya "Federation for Non-State Education Institutions" (FENEI) yategeezezza nga bwe baafuna okwemulugunya okuva mu masomero g'obwannannyini olw'amabanja
ge beewola ng'abaabawola ensimbi babakanda amagoba mu ngeri ya "Mpa akamyu nkuwe ente".

Bbanka ezitabasalira ku magoba, Kaboyo agamba nti zibatadde mu kaseera akazibu ng'amabanja gabali mu bulago nga n'abamu ebizimbe bijula kutwalibwa ku nsimbi entono ezaabawolebwa ezibalemwe okusasula kyokka nga tezigya mu bizimbe ebiyinza
okutwalibwa.

"Kaboyo ayongerako nti mu kunoonyereza kwe baakoze amasomero 95 ku buli 100 embeera gye galimu yaakusabira olw'obwetaavu bw'ensimbi bwe galimu. Nga tutambulira mu kibiina kyaffe ekitugatta ekya FENEI, twagenda mu minisitule
y'ebyenjigiriza gye baatusuubiza okutukwatizaako mu byensimbi. Eno nayo twakottokera busa kuba teri buyambi bwe twafuna".

Minisitule ky'egamba Omwogezi wa ministule y'ebyenjigiriza Patrick Muinda yategeezezza nti ensonga eno bagitaddeko eriiso ejjogi nti era bakola
ekisoboka okuyamba ku masomero g'obwannannyini.

"Omukulembeze w'eggwanga yalagira minisitule y'ebyenjigiriza
okulambika bwe bakoseddwa oluvannyuma ne gavumenti erabe bw'ebayamba", Muinda
bwe yategeezezza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...