TOP
  • Home
  • News
  • Ebimu ku bintu ebireeta obwavu

Ebimu ku bintu ebireeta obwavu

Added 11th November 2020

Jamil Ssebalu

Jamil Ssebalu

Obwavu weebuli naye kitukakatako okubulwanyisa kuba buvaako omuntu okubonaabona.

Bajjajjaffe baagereesa anti omuko omwavu y'ayasa enku ku lumbe ekitegeeza nti teri ajja kukuwa kitiibwa ng'oli mwavu. Noolwekyo tulina okwerwanako obwavu obutatumalaawo anti obwavu mpologoma......

Abantu bangi balabiddwa nga bakola misana na kiro okusobola okulwanyisa obwavu, bangi bagaggawadde oluvannyuma lw'okwerwanako era beegombesa.

Mu butuufu teri yeegomba kukolagana na mwavu kuba tewali ky'amaanyi ky'oggya kumufunako noolwekyo tulwane tusobole okubaako bye tubayigirako n'okubafunako.

Mu nsi muno kyangu okugaggawala ate kyangu nnyo okwavuwala. Omuntu omwavu abeera mu buzibu bungi naddala mu kuyimirizaawo amaka ge kuba abantu be tasobola kubatuusaako byetaago.

Waliwo ensonga eziviirako abantu okwetooloolera mu bwavu ze tulina okwewala tusobole okubaako ne ssente mu nsawo. Tulina okufuga ssente egenda mu nsawo nga tozisaasaanya nga bw'olabye era nga lw'ozifunye, emikwano ne hhanda zonna
toziyita muzinywe n'okuzirya ziggweewo.

Omuntu w'ekika kino alina okukimanya nti tajja kwaza ssente mu nsawo ze era kano kaba kabonero ka bwavu. Omuntu ono ajja kusigala n'amabanja ate ayongere okuddirira mu byenfuna olw'okuba ensawo erimu ebituli ebingi.

Mwattu kyandibadde kirungi okuba n'omuwaatwa omunene oguyingiza ssente ate ng'ogufulumya mutono ddala.

Omuntu ataawone bwavu, aba tayagala nkyukakyuka anti ebintu aba yabikwata bukusu
era ng'asuubira bwe byali era bwe biriba, ekintu ekikyamu.

Jjukira ebyuma bikalimagezi nga byakajja, bangi ku ffe twabiwakanya naye we njogerera bannannyini kkampuni bamaliriza bafunyeemu anti abakozi bakendeera olw'ebyuma okwediza emirimu. UMEME, ekitongole ekyamasannyalaze mu
ggwanga nakyo kyakendeeza ku bakozi abaali babala mmita bwe baaleeta enkola ya Yaka.

Omuntu anaafa obwavu, abeera mutiitiizi era talemera ku kintu. Bw'aba alina omulimu
ne gubeera nga gufuna kitono, oguvaako mangu.

Ffenna tukimanyi bulungi nti omuntu yenna anaafuna lupiiya alemerako nnyo okufuna
ky'ayagala ne batuuka n'okugamba nti yamala kugenda mu nnyanja oba yasaddaaka
abantu okufuna ssente ekitaba kituufu. Olutalo lw'obwavu sirwangu!

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...