TOP
  • Home
  • News
  • Engeri mikwano gyo gy'osobola okugifuula ensulo ya ssente

Engeri mikwano gyo gy'osobola okugifuula ensulo ya ssente

Added 11th November 2020

Michael Ssebbowa

Michael Ssebbowa

ABANTU bangi Katonda yabawa ekitone ky'okubeera n'emikwano emingi
kyokka ogenda okubeetegereza nga kyabafa busa, anti nga tebakyeyambisizza
kubeera bulungi.

Ffenna tukkaanya nti ssente ziva mu bantu era kizibu eggwanga ery'abantu
abatono okuvuganya n'ery'abangi mu byensimbi oba mu bugagga.

Noolwekyo bw'obeera n'emikwano emingi tekirina bulabe okugikolamu oba okugifunamu ssente. Bino nno biyinza okuwulikika nga bye bimu ne bye twayogerako
wiiki ewedde bwe twagambye nti okola otya ssente mu mikwano gyo, kyokka
ku luno tugamba nti oggya otya ssente ku mikwano gyo.

Naye nno wano owulikika ng'ayagala okunyunyunta banno, ekitali kituufu, tulowooza
nti obuguzi bubaawo ng'atunda afuna ky'asinga okwagala mu kiseera ekyo ate n'agula n'afuna ky'ayagala buli omu n'agenda nga musanyufu.

Mu kukola ssente ku bannaffe tutegeeza nti oyinza okubeera ne banno nga ddala mikwano gyo kyokka ng'osobola okubakolamu ssente n'obeera bulungi wadde nga bangi tetutera kukirowoozaako.

Omukugu Martin (Tayagalako ddala) awa amakubo agawerako mw'osobola
okuyita okukola ssente okuva mu banno:
l. Baguze ebintu; Kino buli muntu yandibadde ekirabira mu ggiraasi, naye bameka abakikola? Naye tutunde bintu ki?

lFuuka musuubuzi asuubuza. Kino kitegeeza nti gula ebintu mu bungi obiguze mikwano gyo ku bbeeyi esuubuza.

Kino kitegeeza nti wadde ogenda kufuna amagoba kyokka ojja kulabika ng'atundira ku bbeeyi eya wansi, banno basanyuke naawe osanyuke. Lwaki? Kubanga ggwe
wagenze ewa Mukwano n'ogula butto ku bbeeyi y'ekkolero n'otwala osuubuze abasuubuzi abatunda mu kamu kamu, kati banno oba obaguzizza ku bbeeyi ya musuubuzi agenda okuguza aba kamu kamu.

Nnina mukwano gwange gwe mmanyi aguza banne amanda agafumba mu ngeri eno. Ekikulu kya kuzuula mikwano gyo ebintu bye gyettanira kyokka nga ggwe omanyi w'osobola okubiggya ku bbeeyi ennungi n'obaguza. Weewale amaddu g'okubaseera kubanga togenda kufiirwa muguzi yekka wabula n'omukwano.

lFuuka kayungirizi; Ono kayungirizi gwe njogerako ateekwa okuba ng'alina ku ssente. Bw'omanya nti mukwano gwo alina ekintu ky'ayagala okugula, kyokka nga mu
kiseera ekyo ayinza okuba nga ssente taziweza bulungi, ggwe noonya ekintu
ekyo, okimuguze mu nkola eya kibanjampola, kyokka ng'ofunako
amagoba agasaanidde.

Ggwe atalina ssente kyokka ng'olina munno ayagala okugula ekintu eky'ebbeeyi nga
ettaka, beera mujagujagu okinoonye mu bwangu ozuule akitunda era omulyeko
ensimbi ez'okumuzuulira omuguzi ze bayita kominsoni.

Togeza n'olya enjawulo ku mukwano gwo, ojja kufiirwa byombi.
l. Tunda ebintu byo ebikadde: Bangi ku ffe tufiirwa ebintu byaffe ebikadde nga tetulina kya kubikozesa kyokka nga waliwo mukwano gwaffe eyandibitutte.

Abantu mu mayumba mulinamu ttivvi enkadde, leediyo ze mwakoowa, mmotoka yo
gye wali oyagala ennyo kyokka ng'owulira toyagala kugiguza atagitegeera, lwaki togiguza mukwano gwo gw'omanyi nti ajja kugikwata bulungi. Ofunemu ssente ate mwembi musanyuke. Bo Abazungu abamu babisuula ku kkubo abaakasasiro ne
bayoola.

2. Bapangise: Oyinza okuba ng'olina ku ssente ezizimba enju z'abapangisa, oba ekifo ekisanyukirwamu, oba emmotoka ezicakala, zipangise mikwano gyo. Bw'eba nnyumba kabi ki akali mu kupangisa omuntu gwe weekakasa nti ajja kuba mupangisa mulungi, bw'eba mmotoka ojja kuba weekakasa nti emmotoka eyo oba eryato ly'abalambuzi liri
mu mikono mituufu.

3. Tunda obukugu bwo; Oyinza okuba ng'olina obukugu banno bwe batalina. Okugeza oyinza okuba ng'omanyi okutegeka ebitabo, okunyiriza ennyumba n'oluggya, okusomesa ebintu nga kkompyuta eri abakulu n'abaana, oyinza okuba ng'olina
obukugu mu nkwata y'abakozi ne bakasitoma, oyinza okuba ng'oli kafulu mu kwambala nga banno beetaaga obukugu bwo, basalire ensimbi bazisasule obaweereze.

Ago ge gamu ku makubo mw'oyinza okuyita okukola ssente okuva ku mikwano gyo. Tusobola okwongera okuwuliziganya ku mukutu gwa WhatsApp, kyokka era mbeera ku Bukedde Fa Ma Embuutikizi ku 100.5 okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano ku ssaawa 4.00 ez'oku makya ate era buli Lwamukaaga ku ssaawa 8.00 mba ku Bukedde
TV 1 mu Pulogulaamu TUKOLE ensimbi.

ENGERO Z'ABAGAGGA : Kamukamu, gwe muganda.

MICHAEL M. SSEBBOWA
mssebowa@newvision.co.ug
Ensi kuyiiya

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...