
Katimbo ng’alaga amaka ge agabadde gagenda okutwalibwa.
AMAKA ga ssentebe w'abasuubuzi b'omu Kikuubo, Mohammed Katimbo ne yiika
z'ettaka 200 okuli ebyobugagga bya buwumbi kkooti ebitaasizza okutwalibwa.
Egobye omusango gw'obwannannyini ku ttaka lino ogumaze ebbanga mu kkooti
nga waliwo omukyala agamba nti ye nnannyini ttaka omutuufu ng'alumiriza Katimbo okugulawo mu bukyamu.
Kkooti enkulu etuula e Mukono ye yagobye omusango guno n'eragira Katimbo okukozesa ettaka lye n'okutuula entende mu maka ge e Kiyunga mu Mukono.
Mukyala Eriya Nabbimba ye yatwala Katimbo mu kkooti ng'agamba nti y'alina obuyinza ku ttaka ly'omugenzi BM Ssemafuta nti era yagabana ku ettaka eryo.
Katimbo yamuvunaana ne George Wilson Ross Kalulu, Christopher Musuubire ne kamisona avunaanyizibwa ku byapa.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono, Mary Ikit nga November 10, 2020, oluvannyuma lw'okuwuliriza enjuyi zombi yasazeewo nti Katimbo yagula mu
butuufu era waddembe okukozesa ettaka n'ebyobugagga bye mu mateeka awatali kukugirwa.
Okwemulugunya kwa Nabbimba yakugobye era kkooti n'emulagira aliyirire oludda lwe
yawawaabira.
Katimbo yagambye nti okuva Gavumenti bwe yategeeza nga bw'egenda okuyisa oluguudo mu ttaka lye emuliyirire, afunye abalabe bangi n'abamu ne bavaayo
ne bapanga nti be bannannyini lyo abatuufu.
Yagambye nti obumu ku bujulizi bwe baatwalidde omulamuzi bulaga nti amaka agazimbye mu biseera bya Corona ng'apapirira ekintu ekitali kituufu.
Yategeezezza nti yagula ettaka lino mu 1994 okuva ku Christopher Musuubire
ng'ekifo kyonna kyali kibira.
Yazimbako amaka agamaze kati emyaka egisoba mu 10 era alinako ffaamu, emmwaanyi, ensuku, ekibira n'ebirombe by'amayinja.
Yagambye nti ettaka yaligula mu mateeka n'aweeebwa n'ekyapa.
Oludda lwa Katimbo lwabaddewo mu kkooti ne munnamateeka we James Kiiza. Munnamateeka wa Nabbimba, Patrick Allan Mulindwa naye yabaddewo.
Ekifo ettaka weriri wayitawo oluguudo lw'eggaali y'omukka era mayiro bbiri zokka okuva mu kibuga Mukono.
Ettaka lino lye lisinga okuvaako amayinja n'omusenyu ebikozesebwa e Mukono. Katimbo yategeezezza nti waliwo n'abantu abazzenga bamuteega mu kkubo ng'agenda mu maka ge kyokka ng'abatuuze bamutaasa era kati ekitundu Gavumenti yakitaddemu
poliisi okuziyiza obumenyi bw'amateeka obubadde bususse
mu kitundu.