
Kamoga ng'alaga ebitundu bw'omwana n'ebisigalira.
POLIISI y'e Kasangati ekutte n'eggalira omusajja agambibwa okusaadaaka omwana w'Omusumba w'Abalokole afune obugagga.
Akwatiddwa ye Eria Kamoga nga mutuuze w'e Nakwero nga kigambibwa nti yasse omwana ayitibwa Grace Lubega n'ekigendererwa eky'okufuna obugagga.
Omwana gw'agambibwa okuttibwa wa Musumba Abby Lubega ne Paasita Rhona Male aba Holly Power Dominion Church esangibwa e Nakwero ku luguudo oluva e Gayaza okudda e Kalagi.
Kamoga bwe bamukutte yatutte poliisi gye yateka ebisigalira by'omwana. Eno baazuddeyo ekiwuduwudu wabula ng' omutwe n'omukono ssaako ebitundu bye ebyekyama nga tebiriiko.
Patrick Onyango ayogerera Kampala n'emiriraano yagambye nti bakutte Kamoga oluvannyuma lw'okukkiriza omusango era bakyanoonyereza okuzuula ebitundu ebirala by'omwana ebirala omuli n'omutwe gw'omwana ogukyabuze.