TOP
  • Home
  • News
  • Bwemba seegatttangako kirimu obuzibu?

Bwemba seegatttangako kirimu obuzibu?

Added 13th November 2020

Ssenga logo

Ssenga logo

SSENGA nnina emyaka 23 naye seegattangako na muwala yenna . Ntya okufuna obulwadde ate ntya nnyo emisango. Nkoze ntya kubanga njagala kulindako nga mpezezza emyaka nga 25. Bahhamba nti ssinga ndwawo nnyiza okufuna obuzibu mu maaso eyo. Nsaba kumpabulamu.

Omuntu yenna alina okwesalirawo ky'ayagala. Ekizibu kye tulina mwana wange abantu bangi bagendera nnyo ku bye bawulira oba abantu abalala nga emikwano kye babagamba.
Omuntu alina obwongo era alina okukola ekyo ky'alaba nga kye kisaanidde. Abavubuka bangi batandika okwegatta sikuba nga baagala naye kubanga emikwano gyogera ku kwegatta.

Oluusi abo abagamba nti weegatte oyinza okwesanga nga tebakikolangako.
Kati mwana wange osobola okutandika okwegatta ku myaka gyonna gy'oyagala. Era tewali buzibu bw'oba teweegattangako.

Abavubuka bangi bafunye obuzibu nga embuto ne siriimu mu ngeri eno.
Ekirala oba munno alina emyaka 23 kitegeeza nti naye muntu mukulu era musobola okwogera ku nsonga eno eyo n'omubuulira ekiseera ne lwaki.

Musobola okutandika okulowooza ku ngeri gye musobola okuwona obulwadde obw'enjawulo omuli okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya oba okukozesa kondomu.
Okwegatta kyabutonde era tosobola kulemererwa kukikola.

Ensolo zisobola okwegatta ani azibuulira eky'okukola? Ate jjukira nti tulina obwongo okusinga ensolo kale emirundi egisinga weesanga okikoze nga tewali akusomesezza. Twala obudde obumala otuuke okukikola ng'ekiseera kyo ekituufu kituuse.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...