TOP
  • Home
  • News
  • Sheikh Kayiira abadde atabika Obusiraamu n'eddagala ly'ekinnansi

Sheikh Kayiira abadde atabika Obusiraamu n'eddagala ly'ekinnansi

Added 17th November 2020

Omugenzi Sheikh  Kayiira

Omugenzi Sheikh Kayiira

OKUFA kwa Sheikh Muhamood Kayiira kulese ab'ebyobuwangwa, bannabyabufuzi ne bannaddiini nga bali mu kiyongobero olw'omukululo ogw'amaanyi
gw'alese.

Kayiira yafiiridde mu maka ge e Masajja mu Makindye Ssaabagabo ku Ssande oluvannyuma lw'okulwalira akabanga.

Yaziikiddwa ku Mmande e Nakasoga - Kaliisizo mu disitulikiti y'e Kyotera. Abantu ababadde bamanyi Sheikh Kayiira bamwogeddeko ng'omusajja abadde oweebyewuunyo nti abadde yamalako nga muwogo.

Abadde Seeka, musawo wa kinnansi, mutabuzi wa ddagala, mulimi, mukuumi wa butonde bwa nsi, musuubuzi, mukulembeze wa nnono ate nga munnabyabufuzi.

Sheikh Kayiira, afudde nga y'akulira olukiiko lw'abakadde mu NRM mu Makindye Ssaabagabo, ate nga yannyuka obwassentebe bwa NRM mu 2015 olw'obukadde
n'obukosefu.

Yali ssentebe wa DP mu Makindye Ssaabagabo okuva mu 1980 okutuusa NRM lwe yajja mu buyinza mu 1986 n'afuuka ssentebe wa RC III okutuusa mu 1998 n'afuuka ssentebe wa LC III okutuusa mu 2006.

Obwakabaka bwe bwaddawo mu 1993, Sheikh Kayiira yalondebwa ku bwami bwa Kabaka obw'eggombolola y'e Makindye Ssaabagabo okutuusa lwe yawummula
mu 2015 n'asikirwa Kigozi Sajjalyabeene, kati omubaka w'ekitundu ekyo mu palamenti.

Yasinga kwatiikirira ng'omulimi era omutabuzi w'eddagala ly'ekinnansi mu kibiina kye ekya ‘Gwowonya Eggere', ekyafuuka ekikubagizo olw'ebibiina by'abasawo b'ekinnansi okulwanaganira mu Uganda n'eddagala lyayo ne National Healers and Herbalists Association (NACOTHA) n'ebirala. Kino kiri awo e Masajja w'alina ebikolo by'eddagala ebya buli ngeri era ng'olumu yakyazaako eyali Minisita w'ebyobugagga ebikusike Gerald Sendawula n'amwewuunya.

Okwo kw'abadde agasse okulomba edduwa kyokka nga bamaseeka abavubuka naddala
Abatabuliiki tebakiwagira era naye olw'obutaagala kusika muguwa nabo, nga yeewala
okuba Imaamu w'omuzikiti, yadde ng'abadde Seeka, Obusiraamu n'abuweerereza mu bwassentebe na bubaka.

EBYAFAAYO BYA SHEIKH KAYIIRA
Sheikh Kayiira mwana nzaalwa y'e Nakasoga mu ggombolola y'e Kaliisizo mu disitulikiti y'e Kyotera mu ssaza ly'e Buddu. Kitaawe ye yali omugenzi Sheikh Sentamu.

Okusinziira ku Sheikh Abdul Rahman Gitta bwe bamanyiganye n'omugenzi okuva mu 1977, Sheikh Kayiira naye kennyini abadde teyeekakasa mwaka gwe yazaalibwamu nti kyokka ng'abadde agamba nti awezezza emyaka 85 egy'obukulu.

Mu mboozi gye yalimu mu pulogulaamu ‘Omuntu w'abantu," ku Bukedde TV I, Sheikh Kayiira yagamba nti teyasoma kugenda wala naye eby'eddiini byo yabisomera
ku kifugi.

Bazadde be baali mu kibiina kya Africa Muslim Community Juma Sect Bukoto Nateete olumu ekyayitibwanga Juma Enkadde ekyakulemberwanga omugenzi Sheikh Abdullah Ssekimwanyi, Munnayuganda eyasooka okulamaga e Makka n'e Madiina mu
1920.

Yalejjesaako n'atuuka n'okugendako e Mbarara mu Ankole gye yava okujja ku kibuga.
Olumu yanyumiza Abasiraamu abaali bamukyalidde ku lunaku lwa Eid El Fitri eya
1998 gy'ataasobola kusaala olw'okugwira ekimbe, kyokka eyasaalirwa mu nnamutikwa
w'enkuba, nti: ''Bwe nnali nkyali musajja muwejjere, nalina omuzigo gw'empangisa nga nsula ku kafaliso kokka wansi, nga sinnafuna na ssente zigula kitanda, naye
nagenda okusisimuka ng'ekisenge kyonna kijjudde amazzi era kaabulako katono gammize omukka omusu."

Omuzikiti Omugenzi Sheikh Kayiira Gwe Yazimba.

EMIZIGITI GY'AZIMBYE
Okusinziira ku Sheikh Abdul Rahuman Gitta, ssentebe w'omuzikiti gw'e
Masajja era Imaamu waagwo okuva mu 1979, agamba nti; Sheikh Kayiira yasenga e Masajja ku lw'e Busaabala mu 1971 teyalwa n'atandikawo omuzikiti na kati oguliwo nga ye ssentebe waagwo n'assaako n'essomero erimanyiddwa nga Masajja
UMEA Primary School.

Imaamu eyasooka yali Sheikh Asuman Mugalu ng'amyukibwa Sheikh Gitta.
Mugalu yavaako, Gita n'akwata ng'amyukibwa Sheikh Isaac Kayiira, mutabani wa Sheikh Kayiira.

Mu muzikiti ogwo mwe muvudde ogw'e Namasuba ku luguudo lw'e Ntebe, Masjid Huda ogw'oku Ndikuttamadda, Masjid Anwar mu Masajja, Kibira zooni B, Masjid BM mu Masajja Kibira zooni A, ogw'omu Kikajjo n'ogwa Zindi zooni n'emirala
mingi mu Masajja.

Ate ewaabwe e Nakasoga yazimbayo omuzikiti n'essomero ebyaggulwawo eyali Supreme Mufti Sheikh Zubair Kayongo.

Mu kibiina kya Bukoto Nateete, Sheikh Kayiira yali wa kinywi ne bamaseeka nga Sheikh Abdul Qadir Mbogo, eyalwa ennyo ku bwa disitulikiti Qadhi wa Kampala,
ne Sheikh Muhammad Mukongo oluvannyuma eyafuuka ow'okulusegere n'omugenzi Sheikh Kassim Mulumba eyali Chief Qadhi wa Uganda n'omugenzi Paulo Muwanga eyali omumyuka wa Pulezidenti era Minisita w'ebyokwerinda. Bamaseeka
bano awamu ne kojja wa Sheikh Kayiira, Sheikh Anasi Ssessimba, baali bakinywi ne Idi Amin nga be baalombanga edduwa mu maka ga pulezidenti e Ntebe mu kiseera ekyo.

Sheikh Sessimba ewa Amin yali afuuse muko ng'ali ku lusegere ne maama Madiina Kimbowa Amin, nti era olumu Abanubbi baali baagala okumukwata ng'aliko ddiiru gye
yali abayisizzaawo, ng'enjogera y'ennaku zino bw'eri, Madiina n'amulwanirira ng'agamba nti mwannyina.

Sheikh Gitta agamba nti Sheikh Kayiira abadde agenda na bigenda nga mu 1980 yaliko ku lusegere ne Dr. Paul Kawanga Ssemogerere eyali ssenkaggale wa DP, ate okuva mu
1986 n'afuuka wa NRM kakongoliro amanyiddwa Pulezidenti Museveni era nga Polof.
Gilbert Bukenya we yabeerera omumyuka wa Pulezidenti, Kayiira y'omu
baali bamuwa amagezi.

Wadde abadde Seeka ng'akolagana n'abantu ab'eddiini zonna, amawanga gonna n'ebibiina byobufuzi era nga tasosola mu bantu.

Yawasa abakyala abasoba mu mukaaga naye nga tabeerangako na bakyala basukka mu basatu omulundi ogumu era alese abaana abasoba mu 40.

Omulangira Dr. Hajji Kassim Nakibinge Kakungulu bwe baatabuka ne Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje olw'okutunda emmaali y'Obusiraamu ne kituusa n'eyali ssentebe Hajji Hassan Basajjabalaba okulekulira.

Sheikh Kayiira eyali
ow'okulusegere n'abagenzi Sheikh Kassim Mulumba eyavuganyanga Sheikh Abdul Obeid Kamulegeya ne Sheikh Saad Ibrahim Luwemba eyavuganyanga ne Sheikh Hussein Rajab Kakooza, ku luno yadda ku ludda lwa Mulangira Nakibinge e
Kibuli naye nga tekitegeerekese oba Omulangira Nakibinge bwe yafuna obutakkaanya ne Sheikh Kamulegeya, oba abadde ku ludda ki.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Nansimbi (owookubiri ku ddyo) ne bba Dr. Jjagwe ku gumu ku mikolo egisembyeyo mu bulamu bwe.

Nnaabagereka akungubagidde ...

OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe...

Kabaka

Dr. Luyombya awabudde ku k...

DR. JACK Mukiibi Luyombya, omu basawo abakugu mu ddwaaliro lya Kampala Hospital era nga mukiise mu Lukiiko lwa...

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

Ssegirinya bamututte Nairobi

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde, Mohammed Ssegirinya eggulo ku Ssande baamutadde ku ennyonyi eyamututte e Nairobi...

Ekikomera ekyassibwa ku malaalo ga Basudde (mu katono).

▶️ We baaziika Basudde kati...

NGA wayise emyaka 24 ng'avudde mu bulamu bw'ensi, aba famire y'omugenzi Herman Basudde eyali nnakinku mu kuyimba...