TOP
  • Home
  • News
  • Abatamiivu bakubye omupoliisi ne bamwasa omutwe

Abatamiivu bakubye omupoliisi ne bamwasa omutwe

Added 17th November 2020

Omupoliisi Mulokozi eyakubiddwa abatamiivu.

Omupoliisi Mulokozi eyakubiddwa abatamiivu.

OMUSIRIKALE wa poliisi e Mukono PC, Gerald Mulokozi ali mu kunyiga biwundu ebyamaanyi mu ddwaaliro lya CPR Medical Center e Mukono oluvannyuma lwa batamivu okumukuba amayinja agamwabiza omutwe.

Ono baamukubidde ku kyalo Nakapinyi ekisangibwa my ggombolola ye Nama mu disitulikiti y'e Mukono bwe yabadde ne banne mu kikwekweto ky'okufuuza abaggulawo bbaala.

Okusinziira ku amyuka omwogeezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oweyesigire  Mulokozi yakubiddwa ku ssawa 6:00 okw'ekiro, kabangali ya poliisi bwe yabadde egenze mu kitundu okubaako ffamire gy'etaasa ku bazigu ababadde bagirumbye mu kiro,  mu kukomawo kwekusaga ebbaala nga zikola mu ssaawa za kafuyu ekyawaliriza poliisi okuteeka m unkola ekiragiro kya Pulezidenti.

Abatuuze ate kwekutandika okubakasukira amayinja okukkakkana nga likubye omupoliisi ono ku mutwe ne radio call  n'egwa .

Oweyesigire agamba nti mu kavuvugano kano abantu 15 okuli ne nnannyini bbaala baakwatiddwa , era oluvannyuma radio call yazuuliddwa okuva eri ssentebe w'ekyalo kino eyagitute ku poliisi e Mukono, era awakanyizza  ebiyitingana nti waliwo emmundu eyabbiddwa.

Abakwate bagguddwako emisango gy'okujjeemera ebiragiro by'omukulembeze w'e ggwanga ssaako n'okugezaako okusasanya ekirwadde kya COVID 19, era ng'essaawa yonna baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...