TOP
  • Home
  • News
  • Museveni y'alumirirwa Bannayuganda

Museveni y'alumirirwa Bannayuganda

Added 19th November 2020

Rogers Mulindwa

Rogers Mulindwa

MU nnaku zino 10 ezisoose mu kunoonya akalulu k'Obwapulezidenti, kandideeti wa NRM Yoweri Kaguta Museveni alaze bwali omukulembeze akyasanidde okukulembera eggwanga lyaffe era ddala kituufu asanidde okuweebwa akalulu nga January 14 omwaka ogujja.

Abesimbyewo abalala okuli Robert Kyagulanyi (NUP), Patrick Amuriat (FDC), Mugisha Muntu (ANT), ne Henry Tumukunde bonna balaze obunafu ng'abakulembeze bwe balemeddwa okulowooza ku bulamu bw'abantu ne beefaako bokka.

Gwe asoma bino okimanyi bulungi nti ekirwadde kya ssenyiga omukambwe kiri bubi nnyo mu ggwanga lyaffe nga ne wiiki eno ewedde, twafiiriddwa omubaka wa Palamenti mulamba akikirira Munisipaali ye Kamuli Rehema Watongola.

Abantu b'e Kamuli mbasasidde nnnyo kubanga mwaviiriddwaako mukwano gw'abantu.
Bw'otunuulira ebikolwa bya bano abeesimbyewo nga bakuba enkung'aana ennene kikulaga bulungi nti tebalumirirwa bulamu bw'abantu wabula beerowozaako bokka.

Bbo baagala bululu era endowooza yaabwe eraga nti abalonzi tebajja kuba na makulu ssinga baba bamaze okubalonda. Bannaffe bano balina obusobozi okwejanjabisa singa baba balwadde ekitali kyangu ku muntu wabulijjo.

Omubaka Kyagulanyi bw'alwala alabirirwa gavumenti ya Uganda ku nsimbi z'omuwi w'omusolo kubanga mubaka wa Palamenti naye nga ate abantu baakung'aanya okuboogereramu nga tagoberedde mateeka agamuweebwa akakiiko k'ebyokulonda bwebafuna obulwadde buno basobola okutufaako.

Nga NRM twasalawo okugoberera amateeka agaatuweebwa akakiiko k'ebyokulonda era Pulezidenti Museveni okuva lwe yatandika okunoonya akalulu e Kawumu mu Luweero okutuusa olwaleero nga ali mu bitundu by'e Karamoja tavudde ku mulamwa.

Nga tugenda e Kawumu, abantu bangi batulindirira e Matugga naye waffe yalemera ku mulamwa era teyava mu mmotoka ye. Nsaba abaloonzi baffe muleme okunyigira Pulezidenti waffe era temulowooza nti aba abeewuliriddeko obutava mu mmotoka naye alumirirwa bulamu bwammwe.

Tugenda kukola bwe tuti okutuusa lwe tunamalako kampeyini zonna nga kandideeti waffe asisinkana abakulembeze abasamusaamu abatalina kusukka 200 ng'eteeka bwe litulagira. Bano be bajja okudangayo basisinkane abalala ku mitendera egya wansi.

Tugenda kukozesa nnyo enkola ey'okunoonya akalulu nju ku nju. Tetugenda kukiriza bantu kuva mu bitundu ebirala mbu banoonye akalulu ka NRM mu bitundu gye batabera kubanga baba tebamanyi bifa mu bitundu ebyo.

Mulina okukitegeera nti bannaffe abakuba enkung'aana ennene tebabalumirirwa era ne bwe baba bawangudde tebayinza kuwa nsonga za byabulamu nkizo.

Mu kiseera nga kino wolabira obusobozi n'obumanyirivu bw'oyo gwe wandyagadde okuwa akalulu. Omuntu atasobola kufaayo kubulamu bw'omuntu waabulijjo mu kaseera kano aba tayinza kulowooza ku nsonga zino nga atuuse mu buweereza.
Mwebale kuwagira Pulezidenti Museveni.

Bya Rogers Mulindwa

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...