
Buwembo (ku kkono) ne Nassolo.
WAABADDEWO katemba e Nalukolongo, abeesimbyewo ku kifo ky'omubaka wa
palamenti owa Lubaga South; Eugenia Nassolo owa DP ne Habib Buwembo owa
FDC bwe baasisinkanye mu kitundu kye kimu nga buli omu awenja akalulu nju
ku nju.
Buli omu yasabye munne amuwe akalulu agende amukiikirire. Nassolo yakedde mu kitundu kino nga yasoose kugogola myala n'alyoka anoonya akalulu.
Wano ttiimu ya FDC okwabadde Habib Buwembo eyeesimbyewo ku kifo kye kimu nayo yatuuse nga bali ne Dr. Stella Nyanzi buli omu n'asaba abatuze akalulu.