TOP
  • Home
  • News
  • Minisitule egumizza ku bayizi abaakwatiddwa Corona

Minisitule egumizza ku bayizi abaakwatiddwa Corona

Added 20th November 2020

Dr. Kedrace Turyagenda

Dr. Kedrace Turyagenda

MINISITULE y'ebyenjigiriza egumizza abazadde baleme kusattira olw'abayizi abaasangiddwaamu Corona, wabula bagende mu maaso nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa minisitule y'ebyobulamu.

Dr. Kedrace Turyagyenda akulira eby'okulondoola ebyenjigiriza mu minisitule
y'ebyenjigiriza yagambye nti embeera y'obulwadde we butuuse kisuubirwa nti abayizi nabo tebayinza butabufuna.

Kiddiridde abayizi 45 okuva mu masomero abiri mu disitulikiti y'e Masaka okusangibwamu Corona.

Dr. Nathan Onyach akulira eddwaaliro ekkulu ery'e Masaka yagambye nti abayizi bano babadde ba kisulo era baggyiddwa ku masomero ne batwalibwa gye bajjanjabirwa.

Onyach yagambye nti tewali bwetaavu bwa kuggala masomero mwaggyiddwa
bayizi, kuba abalwadde baaweereddwa ebitanda era bafuna obujjanjabi ku ssomero.

Mu kiseera kino balina abasawo 16 abalina obulwadde abaalagibwa okweyawula era abakugu babalondoola bulungi.

Ku bantu abanaazuulibwa nga tebasobola kwekuuma butalwaza bantu be babeera nabo,
bajja kuggyibwayo batwalibwe mu ddwaaliro gye baba bafunira obujjanjabi.

Dr. Turyagyenda yagambye nti amasomero abayizi gye baasangibwamu obulwadde
tebalina kutya nnyo kuba obulwadde butambudde nnyo mu bantu era kyangu
okubufuna.

Yagambye nti abakulira essomero bwe bafunamu okutya kwonna balina kukolagana n'akakiiko ka disitulikiti akalwanyisa Corona ne basalira wamu amagezi.

Buli ssomero lisaana okukakasa nga ligoberera ebiragiro ebyabaweebwa ng'okunaaba
mu ngalo, okwambala masiki n'obuteeriraana.

Olw'okuba ng'obulwadde buva mu bantu, yasabye buli muntu okubeera omwegendereza bave mu by'okuyingizaamu eby'obufuzi ebirowoozesa abantu nti obulwadde tebuliiwo.

Dr. Mark Jjuuko akulira ekifo omujjanjabirwa Corona e Masaka yagambye nti abayizi abasinga bongedde okuba obulungi era balina essuubi nti bajja kusiibulwa nga
bateredde.

Amannya g'abayizi abaasangiddwaamu Corona gakuumibwa nga ga kyama olw'ekwewala abantu okubasongamu ennwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...