
Abagenzi Lwebuga ne Ssemanda
ABAVUBUKA babiri baavudde ku mulimu ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo ku Lwokusatu ne boolekera Nansana mu zooni ya Nansana East II kyokka tebaategedde
nti lwe lunaku lwabwe olusembayo.
Fred Semanda 28, ne Robert Rwebuga 27, bwe baasimbye ppiki awaka ne basalawo okudda ku kkubo okumpi ne we basula, amasasi we gaabasanze ne bafiirawo. Amasasi
okubatta, poliisi n'aba LDU baabadde bagobagana n'abawagizi ba Bobi Wine abaabadde beekalakaasa.
SSEMANDA AMASASI GAAMUYUZIZZA OLUBUTO
Milly Kyeyune ssenga wa Ssemanda yategeezezza nti mutabani we yannyuse
n'ateeka ppiki awaka n'asalawo okudda ku kkubo anyumyemu ne mukwano gwe bwe bavuga booda.
Kyeyune yagambye nti ekyaddiridde kwe kulaba Ssemanda ne munne nga bagudde wansi ng'ebyenda bya Ssemanda biri wabweru.
Okumuddusa mu kalwaliro akali okumpi nga yafudde dda. Abooluganda lwe baategeezezza nti poliisi yakozesezza obukambwe obususse kuba omugenzi yabadde
talina kavuyo ke yeetobeseemu nga baamulumbye mu maka ga bazadde be. Ssemanda agenda kuziikibwa Bombo ku Lwomukaaga. Alese nnamwandu, Winnie Mbabazi.
LWEBUGA YAKUBIDDWA AMASASI 2
Robert Lwebuga ye yabadde ne Ssemanda nga banyumya, amasasi we gaabasanze.
Esther Naluwugge mwannyina w'omugenzi yategeezezza nti baamukubidde
ssimu nga bamugamba nti Lwebuga akubiddwa amasasi.
"Nnatuuse ku mulambo nga guliko ekisago mu kifuba ne ku mugongo nga takyalimu kassa. N'ebisosonkole by'amasasi byabadde bigudde wansi era twategedde
luvannyuma nti aba LDU be baabadde bagakubye." Naluwugge bwe yayongeddeko.
Bano basabye poliisi okuvaayo eyambe nnamwandu n'abaana omugenzi b'alese
kuba abalese tebalina wadde ekintu we batandikira. Lwebuga waakuziikibwa
Masaka ku Lwomukaaga.