TOP
  • Home
  • News
  • Bataddewo empooza empya mu katale e Nakawa

Bataddewo empooza empya mu katale e Nakawa

Added 20th November 2020

Dorothy Kisaka (ku ddyo) ne Betty Amongi nga batuuka mu katale k’e Nakawa.

Dorothy Kisaka (ku ddyo) ne Betty Amongi nga batuuka mu katale k’e Nakawa.

MINISITA wa Kampala Betty Amongi agobye akakiiko akabadde kakulira akatale k'e Nakawa n'alonda abantu basatu abagenda okudda mu kifo kyabwe.

Charles Okuni y'abadde akulira akatale kano. Abaalondeddwa ye; Rose Otiti, Joseph Mudhasi ne Seeka Kibirango nga bano be bagenda okukolagana ne KCCA okuddukanya akatale okutuusa lwe banaalonda obukulembeze obulala.

Baagerese ssente abasuubuzi ze balina okusasula ng'abamaduuka baakusasula
12,000/-, emidaala 19,000/-, abatundira wansi 6,500/- nga zino za buli mwezi.

Abasuubuzi baalojjedde minisita Amongi ennaku gye babadde bayitamu omuli empooza esusse obunene, obulumi ku masannyalaza n'amazzi ng'abamu emidaala gyabwe gyabaggyibwako abakulembeze b'akatale.

Rose Otiti yagambye nti amasannyalaze bagabaseera era tewali gwe bakkiriza kugakozesa ng'abanjibwa kyokka ekimwewuunyisa kwe kuzuula nti akatale kabanjibwa obukadde 100 ez'amasannyalaze.

Baategeezezza nti abakolera mu bibangirizi buli lunaku babaggyako empooza ya 1,200/- ate n'abaleeta ebirime mu katale nabo balina ssente ze babaggyako.

Minisita Amongi yategeezezza nti gavumenti yasalawo obutale bwonna mu Kampala
okussibwa wansi wa KCCA kyokka bwasigala buli mu mikono gy'abakulembeze
abamu era bwatyo Museveni kye yava asalawo okuyimiriza obukulembeze bwonna mu
butale obuli mu Kampala obuli wansi wa KCCA.

Amongi yawabude ku katale k'e Nakawa akamanyiddwa nga aka Basajjabalaba
n'agamba nti eyali nnannyini ko gavumenti yamuliyirira era we kali kibangirizi kya kkubo kye baava bassaawo tulansifooma okuva amasannyalaze akatale ge kakozesa.

Wabula n'agamba nti waliwo abagezigezi abaafuna ekyapa ku kifo kino era nga
bagenda kukisazaamu. Yalabudde nti tewabaawo muntu yenna addamu kusolooza
ssente zaawukana kw'ezo ezisoloozebwa mu katale k'e Nakawa era abakoleramu
balina kubeera wansi wa bukulembeze bw'akatale k'e Nakawa.

Yategeezeza nti tewali muntu yenna akkirizibwa kutandikawo katale oba ppaaka
mu Kampala nga tasoose kufuna lukusa kuva mu KCCA.

Dorothy Kisaka akulira ekitongolekya KCCA yagambye nti bagenda kuteeka mu nkola
ebiragiro bya Pulezidenti kuba abasuubuzi babadde banyigirizibwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...