TOP
  • Home
  • News
  • Bamukutte yaakafera abantu 60

Bamukutte yaakafera abantu 60

Added 20th November 2020

Musoke eyakwatiddwa.

Musoke eyakwatiddwa.

POLIISI okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli ekutte omusajja agambibwa okufera abavubuka abasukka mu 60 ssente n'ebintu ebikalu nga yeerimbise mu kubeera n'akakwate ku maka g'Obwapulezidenti era alina obusobozi obubatwala ebweru w'eggwanga.

Alafa Musoke ye yakwatiddwa nga kigambibwa nti yasinziira mu ofiisi ze eziri ku Bishop Road e Namirembe n'afera abantu ng'abasuubizza okubafunira viza okugenda mu Amerika ne Canada.

"Musoke ambonyaabonyezza nnyo era obulamu bwange yabuttattana. Nnali nkolera Buwalabu wabula endagaano yange nga eneetera okuggwaako, bandagirira nti omusajja ono asobola okunfunira visa ya Amerika.

Namusindikira obukadde 8 mu 2018 wabula yazibba era n'ambulako," Hadson Lubwama omu ku be yafera bw'agamba.

Fred Lubowa ow'e Kawempe agamba nti yamusaba obukadde 5 okumufunira viza ya Amerika era n'atunda ebintu bye okuzifuna naye okuva lwe yazimuwa tafunanga
kye yali ayagala okuggyako okutiisibwatiisibwa.

Mu ngeri y'emu Eliab Veema agamba nti Musoke yamufera n'amuwa emmotoka ekika kya Ford wabula kati yagiwamba kubanga alina abaserikale b'atambula nabo era ng'alumiriza nti abaserikale be bamu b'akolagana nabo nga ne bwe bamuwawaabira ku poliisi tewali kimukolebwako.

Omwogezi w'ekitongole kya bambega ba poliisi e Kibuli, Charles Twine yagambye nti Musoke ajja kuvunaanibwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...