TOP
  • Home
  • News
  • Bonna abaali mu ddiiru z'okufera abantu ne Pasita Siraje bakwatibwe- Pulezidenti

Bonna abaali mu ddiiru z'okufera abantu ne Pasita Siraje bakwatibwe- Pulezidenti

Added 21st November 2020

Pulezidenti Museveni ng'ayogera era abeemulugunya ku Pasita Siraje okubafera.

Pulezidenti Museveni ng'ayogera era abeemulugunya ku Pasita Siraje okubafera.

PULEZIDENTI Museveni ayingidde mu nsonga za paasita Siraje ez'okufera basumba banne. Alagidde buli muntu eyali mu ddiiru eno okuli n'abakozi ba gavumenti bakwatibwe bavunaanibwe.

Bino Pulezidenti yabyogeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n'abamu ku basumba ssaako abantu abalala abagambibwa nti Omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo yabafera ssente ezisukka mu buwumbi obuna (4).

Bagamba nti yabasuubizanga okubayamba okuddaabiriza kkanisa zaabwe ssaako okubawa ssente okweggya mu bwavu,  okubawa fiizi z'abaana, okubatwa okulambula mu nsi ya Yisirayiri era n'abasuubiza n'okugenda e South Afrika ng'eno baali balinayo olusirika.

Pulezidenti Museveni Ng'asiibula Abeemulugunya Ku Pasita Siraje.

Abantu bano abaasindidde pulezidenti ennaku n'obulumi bwe bayitamu okuva lwe babbibwa, baamutegezezza nti omupango gwalimu n'abamu ku bakozi ba gavumenti ababasuubiza okubagaggawaza nga bayita mu pulogulaamu za gavumenti era kino kyamusaanudde n'alagira bano bakwatibwe.

Pulezidenti waviiriddeyo nga Pasita Siraje ali mu kkomera e Kitalya gye yasindikibwa kkooti ng'okunoonyereza mu musango guno bwe kugenda mu maaso.

Ate abalala akakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema akaateekebwawo okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi be kanoonyerezako okuli; omuyimbi era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala, Catherine Kusasira, omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala ne Dr. Hilary Musoke Kisanja, Pasita Mondo Mugisha  ne Robert Rwakandere omujaasi akola mu ofiisi ya Pulezidenti baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw'okukola sitatimenti.

Ebifaananyi bya President Museveni twitter


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...