TOP
  • Home
  • News
  • Ebigezo by'amatendekero gy'ebyemikolo bitandika Mmande eno

Ebigezo by'amatendekero gy'ebyemikolo bitandika Mmande eno

Added 21st November 2020

Onesmus Oyesigye ng'ayogera eri abaamawulire.

Onesmus Oyesigye ng'ayogera eri abaamawulire.

Ebigezo by'amatendekero geby'emikono eby'omutendera gwa  May/June bitandika ku Mmande nga November 23,2020.

Byali  byakukolebwa mu mwezi gwa May ne June omwaka guno, ne bikyusibwa oluvannyuma lw'okuggalawo amasomero mu March w'omwaka guno olw'okubalukawo kw'ekirwadde kya Covid-19.

Onesmus Oyesigye, Ssaabawandiisi w'ekitongole ekikola ku bigezo by'amatendekero g'ebyemikono mu ggwanga ekya Uganda Business and Technical Examinations  Board (UBTEB)  agambye nti, ebibuuzo by'omutendera guno byatandise na kubuulirira bayizi eggulo, olwo Ku Mmande ebibuuzo bitandike, bikomekkerezebwe nga 18/12/2020 omwezi ogujja.

Bwe yabadde mu lukiiko lw'abaamawulire yagambye , abayizi 11, 653 be beewandiisa okukola ebigezo bino, ne ‘ssenta' 170 ze zakakasibwa okutuuza abayizi.

Oyesigye agamba nti, ebikozebwa byonna byamaze dda okuweerezebwa ku' ssenta' awagenda okutuuliza ebibuuzo, n'asaba abayizi n'abasomesa okugoberera ebiragiro bya minisitule yeby'obulamu ku kirwadde kya Covid-19.

Alabudde abayizi n'abasomesa obutetantala kwenyigira mu mize gya kukoppa kubanga bandisazaamu ebibuuzo byabwe.

Agambye bataddewo abalondoola bangi ddala, okulaba nga tewabaawo kubba bibuuzo nga bakolaganidde wamu me poliisi  nayo egenda okubayambako mu mulimu guno.


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...