
Daniel Kazibwe Raggae Dee (ku kkono) mu kutongoza ekisinde ky'abavubuka ekya Yellow Thumb Initiative e Bugoloobi
ABAVUBUKA b'ekibiina kya NRM batabukidde bannaabwe abali ku ludda oluvuganya nga babalumiriza okukozesebwa bannabyabufuzi okwekalakaasa.
Bano nga beegattira mu kibiina kya Yellow Thumb Initiatives, abaakulembeddwa akulira
ekisinde kino Muhammed Bagye, baasinzidde Bugoloobi mu kutongoza ekibiina kyabwe ne batabukira abavubuka abeekalakaasa nga bagamba nti kye kiremesezza Gavumenti
okubayamba.
Bagye yawadde abavubuka amagezi okufuba okwenyigira mu bulimu obutono obusobola okubayamba. Daniel Kazibwe (Ragga Dee), eyabadde omugenyi omukulu mu kutongoza
ekibiina kino, yavumiridde bannabyabufuzi abafubye okukuumira abavubuka emabega.