TOP
  • Home
  • News
  • Meeya wa Mukono atongozza okukola oluguudo lwa Bishop Tucker

Meeya wa Mukono atongozza okukola oluguudo lwa Bishop Tucker

Added 21st November 2020

Meeya Kagimu  (wakati) Town Clerk , Nanyonga (ku ddyo) ne Ying Sserunjogi (ku kkono) nga batongoza okuzimba oluguudo.

Meeya Kagimu (wakati) Town Clerk , Nanyonga (ku ddyo) ne Ying Sserunjogi (ku kkono) nga batongoza okuzimba oluguudo.

ABAKULIRA ekibuga Mukono batongozza omulimu gw'okuzimba oluguudo lwa Bishop Tucker oluva ku Jinja Road okuliraana essundiro ly'amafuta erya Petro City okutuuka ku Uganda Christian University.

Meeya w'ekibuga Mukono, George Fred Kagimu yasinzidde mu kutongoza enteekateeka y'okukola oluguudo luno ku Mmande n'asaba gavumenti okwongera ku nsimbi z'ewa gavumenti ez'ebitundu ng'ebibuga ne disitulikiti okukola enguudo eziyita mu byalo okulaba nga bakendeeza ku bulippagano bw'ebidduka naddala ku luguudo luno oluva e Jinja okudda e Kampala.

Ensimbi akawumbi kamu n'ekitundu ze zigenda okusaasaanyizibwa ku luguudo luno era nga lwakuzimbibwa mu bbanga lya myezi 2 gyokka.

"Oluguudo luno lwettanirwa nnyo emmotoka eziba zisalako akalippagano era nga lukozesebwa buli mmotoka omuli n'ezebyamaguzi eziba zigenda e Nairobi ne Mombasa. Tusazeewo okulaba nga tuluddaabiriza.

Nsaba gavumenti etwongere ku ssente tubeeko n'amakubo amalala ge tukola ageesudde ekibuga agagenda okuyamba abantu ate era ne UNRA tusaba efube okulaba ng'etwala obuvunaanyizibwa okukola amakubo agaayo ate gakolebwe ku mutindo ogusaanidde," Kagimu bwe yagambye.

Amyuka Town Clerk wa munisipaali y'e Mukono, Alex Nanyonga Sseruwagi yasabye eyaweereddwa obuvunaanyizibwa bw'okuzimba oluguudo luno Ali Mubarak okukozesa obwesimbu akole oluguudo olutuukana n'omutindo ate era alukolere mu bbanga erimuweereddwa.

Okusinziira ku yinginiya wa munisipaali eno, Josiah Sserunjogi, oluguudo luno lugenda kuba lwa kkiromita 7 era ng'ono yasabye abagenda okuluzimba okufuba okulaba nga baluzimba bulungi ku muwendo ogwa ssente eziri mu bajeti gye baalukkaanyizzaako okuzimbibwa okulaba nga luggwa mu nnaku 66 lusobole okuggulwawo mu butongole era luddemu okukozesebwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...